Okusanyukira Awamu ne Yakuwa era n’Omwana We
Omukolo Ogusinga Obukulu mu Mwaka gwa Kukuzibwa nga Maaki 28
1 Nga tujjukira Ekyeggulo kya Mukama waffe, nga Maaki 28, 2002 ng’enjuba emaze okugwa, tulaga nti tusanyukira wamu ne Yakuwa Katonda era ne Yesu Kristo. Ku mukolo ogwo omukulu ennyo, ensigalira y’Abakristaayo abaafukibwako amafuta bajja ‘kussa kimu’ ne basika bannaabwe abalala ab’Obwakabaka, Kitaffe, awamu n’Omwana we. (1 Yok. 1:3; Bef. 1:11, 12) Obukadde n’obukadde bw’abantu ‘ab’endiga endala’ bajja kufumiitiriza ku nkizo yaabwe ey’ekitalo ey’okubeera obumu ne Yakuwa era n’omwana we mu kutuukiriza omulimu gwa Katonda!—Yok. 10:16.
2 Okukolera Awamu nga Tulina Enkolagana ey’Oku Lusegere: Okuva edda n’edda, Yakuwa ne Yesu babadde basanyufu okubeera obumu. Baalina enkolagana ey’oku lusegere okumala ebbanga ddene nnyo ng’omuntu tannatondebwa. (Mi. 5:2) N’olwekyo, baafuna omukwano ogw’amaanyi ennyo. Ng’ayitibwa amagezi, omwana ono omuggulanda yagamba: “Kale nze nga ndi awo gy’ali ng’omukoza: era bulijjo yansanyukiranga, nga njaguliza bulijjo mu maaso ge.” (Nge. 8:30) Olw’okumala ebbanga eddene ennyo ng’ali wamu n’oyo Asibukako okwagala, kirina kinene nnyo kye kyakola ku Mwana wa Katonda ono!—1 Yok. 4:8.
3 Ng’akimanyi nti abantu beetaaga okununulibwa, Yakuwa yalonda Omwana we omu yekka, oyo eyali ayagala ennyo abantu okuwaayo ssaddaaka etuleetera okuba n’essuubi. (Nge. 8:31) Nga Yakuwa n’Omwana we bwe bali obumu mu kutuukiriza ekigendererwa, naffe tusigala nga tuli bumu nabo era ne bakkiriza bannaffe nga tulina okwagala okw’amaanyi ennyo, era nga tukola Katonda by’ayagala n’essanyu.
4 Okulaga Okusiima Kwaffe Okuva mu Mutima: Tuyinza okulaga okusiima eri okwagala kwa Katonda ne ssaddaaka y’Omwana we, nga tubaawo ku Kijjukizo era nga tuwuliriza n’obwegendereza. Mu ebyo ebinaayogerwako mwe muli ekyokulabirako kya Yesu eky’okwagala, obwesigwa bwe yalina okutuusiza ddala ku kufa bwe yawaayo ekinunulo, obufuzi bwe nga Kabaka mu Bwakabaka bwa Katonda obwateekebwawo, wamu n’emikisa Obwakabaka buno gye bunaaleetera olulyo lw’omuntu. Era tujja kujjukizibwa ku bwetaavu bw’okulaga okukkiriza kwaffe buli kiseera nga tunyiikira okukola ebyo Yakuwa by’ayagala ‘nga bakozi banne mu mazima.’—3 Yok. 8; Yak. 2:17.
5 Okuyamba Abalala Okutwegattako: Akakiiko k’abakadde kalina okukola kaweefube ow’enjawulo okukubiriza Abajulirwa ababadde batakyabuulira okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo ky’okufa kwa Kristo. (Mat. 18:12, 13) Mukole olukalala lw’abo ab’okukyalira waleme kubaawo n’omu atatuukibwako, bonna bayitibwe.
6 Omanyiiyo abalala abayinza okujja ku mukolo gw’Ekijjukizo? Twala obuvunaanyizibwa okubayamba okusiima omukolo guno. Bayite n’essanyu, era balage okwagala. Ka tukole kyonna kye tusobola okuyita abayizi baffe bonna aba Baibuli, ab’eŋŋanda, mikwano gyaffe n’abalala abaagala okumanya ebisingawo ku Baibuli ku mukolo guno ogusinga obukulu mu mwaka. Bonna abayiga ‘okumanya okukwata ku Yesu’ basobola okufuna emiganyulo gy’ekinunulo. (Baf. 3:8) Abo abakkiririza mu ssaddaaka ya Kristo basobola okufuna essuubi erinywevu ery’obulamu obutaggwaawo.—Yok. 3:16.
7 Tonyoomanga ekyo Ekijjukizo kye kiyinza okukola ku bantu abeesimbu. Emyaka ebiri egiyise mu nsi eyitibwa Papua New Guinea, abantu 11 baasaabala mu kaato okumala essaawa 17 ne bayita mu guyanja ogwalimu amayengo amangi okusobola okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo. Lwaki? Baagamba: “Twayagala okukuza Ekijjukizo kya Kristo ne bannaffe abasinza Yakuwa, n’olwekyo olugendo lwaffe lwali lugwanira.” Lowooza ku bunyiikivu abantu bano bwe baalaga n’okusiima olw’okwagala okusanyukira awamu ne Yakuwa, Omwana we, era n’oluganda olw’Ekikristaayo!
8 Saba okuyigiriza Baibuli abo bonna abaagala. Bakubirize okujja mu nkuŋŋaana obutayosa era babuulire ne ku balala amazima ge bayiga. Bayambe ‘okutambulira mu kitangaala’ era ‘n’okukolera ku mazima’ nga bagoberera emisingi gya Baibuli mu bulamu bwabwe. (1 Yok. 1:6, 7) Bayambe okukulaakulanya enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa era beeyongere okusiima enkizo ey’okukolera awamu ebyo Katonda by’ayagala.
9 Nga nkizo ya kitalo nnyo okubeera obumu ‘mu mwoyo n’okulwanirira okukkiriza okw’enjiri n’emmeeme emu’! (Baf. 1:27, 28) Ka twesunge okubeera awamu ffenna ku mukolo gw’Ekijjukizo nga Maaki 28, era ka twebazenga Yakuwa n’Omwana we!—Luk. 22:19.