LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 2/08 lup. 1
  • Okujjukira Ekinunulo n’Omutima Ogujjudde Okusiima

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okujjukira Ekinunulo n’Omutima Ogujjudde Okusiima
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Similar Material
  • “Mukolenga Bwe Mutyo” Omukolo gw’Ekijjukizo Gwa Kubaawo nga Apuli 5
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Ka Tulage Okusiima Kwaffe
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • “Mukolenga Bwe Mutyo Okunjijukiranga Nze” Okufa kwa Yesu Kujja Kujjukirwa nga Apuli 2
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Obupapula Obuyita Abantu ku Kijjukizo Obunaagabibwa mu Nsi Yonna!
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
km 2/08 lup. 1

Okujjukira Ekinunulo n’Omutima Ogujjudde Okusiima

1, 2. Lwaki tusaanidde okujjukira ekinunulo n’omutima ogujjudde okusiima?

1 Nga bagondera ekiragiro kya Yesu, Abakristaayo okwetooloola ensi yonna bajja kukuŋŋaana wamu okujjukira okufa kwa Yesu ku Lwomukaaga nga Maaki 22, 2008, oluvannyuma lw’enjuba okugwa. (Luk. 22:19; 1 Kol. 11:23-26) Kino tukikola olw’okuba tusiima nnyo ebyo ebyatuukirizibwa ku lunaku olwo, emyaka 1,975 emabega. Yesu bwe yakuuma obugolokofu bwe ng’attibwa mu bulumi obw’ekitalo ennyo ku muti ogw’okubonyaabonya, yatukuza erinnya lya Kitaawe era n’awa eky’okuddamu ekituukiridde eri okusoomooza kwa Setaani.​—Yobu 1:11; Nge. 27:11.

2 Omusaayi gwa Yesu ogwayiibwa gwasobozesa endagaano empya okussibwawo era nga kino kyasobozesa abantu abatatuukiridde okufuuka abaana ba Katonda, nga balina essuubi ery’okufugira awamu ne Kristo mu Bwakabaka bwe obw’omu ggulu. (Yer. 31:31-34; Mak. 14:24) Ate era, nga Yesu bwe yali annyonnyodde Nikoodemo, okwagala okungi Katonda kw’alina eri olulyo lw’omuntu kweyoleka bulungi bwe yawaayo Omwana we omwagalwa ennyo okutufiirira.​—Yok. 3:16.

3. Abo abanaabaawo ku Kijjukizo banaaganyulwa batya?

3 Yita Abalala: Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali kaatukubiriza okukola olukalala lw’abo be tuteekateeka okuyita era n’okufuba okubayita. Otandise okuyita abo abali ku lukalala lwo? Otandise okukola enteekateeka ezinaakusobozesa okwenyigira mu bujjuvu mu kaweefube ow’okuyita abantu okubaawo ku Kijjukizo, anaatandika nga Maaki 1? Abo abanaabaawo ku mukolo guno bajja kuwuliriza okwogera okwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa okujja okuzimba okukkiriza kwabwe mu kinunulo, kibasobozese okufuna obulamu obutaggwaawo.​—Bar. 10:17.

4. Lwaki tusaanidde okutuuka nga bukyali ku mukolo gw’Ekijjukizo?

4 Bonna abasobola basaanidde okufuba okutuuka nga bukyali basobole okwaniriza abo abanajja ku mukolo guno. Olw’okuba omukolo gw’Ekijjukizo gutera okubaako abantu bangi, kiba kikulu nnyo ne tufaayo ku bapya awamu n’abo abatera okujja mu nkuŋŋaana zaffe.

5. Oyinza otya okuteekateeka omutima gwo nga weetegekera Ekijjukizo?

5 Teekateeka Omutima Gwo: Mu katabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa buli Lunaku​—2008 ne mu 2008 Calendar mulimu enteekateeka ey’enjawulo ey’okusoma Baibuli mu kiseera ky’Ekijjukizo okuva nga Maaki 17. Okufumiitiriza ku bintu ebikulu ebyaliwo nga Yesu anaatera okufa, kijja kukuyamba okuteekateeka omutima gwo nga weetegekera Ekijjukizo. (Ezer. 7:10) Bw’onoosaba era n’ofumiitiriza ku bintu bino, kijja kukusobozesa okweyongera okusiima Yakuwa n’Omwana we olw’okwagala okungi kwe baatulaga okuyitira mu nteekateeka y’ekinunulo.​—Zab. 143:5.

6. Tunaaganyulwa tutya bwe tuneeyongera okusiima ekinunulo?

6 Ng’Ekijjukizo kigenda kisembera, ka tweteekereteekere omukolo guno omukulu ennyo, era tuyambe n’abalala okukola kye kimu. Bwe tujjukira ekinunulo n’omutima ogujjudde okusiima, kijja kunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa awamu n’Omwana we. (2 Kol. 5:14, 15) Era kijja kutuleetera okubakoppa nga tulaga abalala okwagala okw’okwefiiriza.​—1 Yok. 4:11.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share