“Mukolenga Bwe Mutyo” Omukolo gw’Ekijjukizo Gwa Kubaawo nga Apuli 5
1. Lwaki omukolo gw’okujjukira okufa kwa Kristo mukulu nnyo?
1 “Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga nze.” (Luk. 22:19) Ng’akozesa ebigambo ebyo, Yesu yalagira abagoberezi be okujjukiranga okufa kwe. Olw’okuba ekinunulo kya muganyulo nnyo mu bulamu bwaffe, olunaku ffe Abakristaayo lwe tutwala nga lwe lusinga obukulu lwe lw’okujjukirirako okufa kwa Kristo. Ng’Ekijjukizo ky’omwaka guno ekinaabaawo nga Apuli 5 kigenda kisembera, tuyinza tutya okulaga okusiima kwaffe eri Yakuwa?—Bak. 3:15.
2. Ng’Ekijjukizo kigenda kisembera, tuyinza tutya okulaga okusiima kwaffe?
2 Weeteeketeeke: Tutera okweteekerateekera ebintu bye tutwala nga bikulu nnyo. Tusobola okuteekateeka emitima gyaffe nga tusomera wamu ng’amaka ebyo ebyaliwo nga Yesu anaatera okuttibwa era nga tubifumiitirizaako. (Ezer. 7:10, NW) Ebimu ku byawandiikibwa ebyogera ku ebyo ebyaliwo, bisangibwa mu kalenda yaffe ne mu katabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku, ate lwo olukalala okuli ebyawandiikibwa byonna n’ezimu ku ssuula z’akatabo Greatest Man bisangibwa mu Watchtower eya Febwali 1, 2011, olupapula 23-24.
3. Tuyinza tutya okulaga okusiima mu kiseera ky’Ekijjukizo?
3 Buulira: Ate era tusobola okulaga okusiima nga twenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira. (Luk. 6:45) Okutandika n’Olwomukaaga nga Maaki 17, tujja kuba ne kaweefube mu nsi yonna ow’okuyita abantu babeewo ku mukolo gw’Ekijjukizo. Osobola okukyusakyusaamu mu nteekateeka zo osobole okumala ebiseera ebiwerako mu buweereza, oboolyawo ng’oweereza nga payoniya omuwagizi? Lwaki temukyogerako ng’amaka mu Kusinza kw’Amaka okunaddako?
4. Miganyulo ki gye tufuna bwe tubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo?
4 Nga tuganyulwa nnyo bwe tubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo buli mwaka! Essanyu lyaffe n’okwagala kwe tulina eri Katonda byeyongera bwe tufumiitiriza ku mwoyo omugabi Yakuwa gwe yatulaga ng’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka ng’ekinunulo. (Yok. 3:16; 1 Yok. 4:9, 10) Kino kitukubiriza obutaba balamu ku lwaffe. (2 Kol. 5:14, 15) Ate era kituleetera okwongera okwagala okutendereza Yakuwa mu lujjudde. (Zab. 102:19-21) Mu butuufu, abaweereza ba Yakuwa basiima era beesunga nnyo omukolo gw’okujjukira okufa kwa Kristo ogunaabaawo nga Apuli 5 ogunaabasobozesa ‘okulangirira okufa kwa Mukama waffe.’—1 Kol. 11:26.