Weeteekereteekere Omukolo gw’Ekijjukizo n’Omutima Ogujaguza
1. Kakisa ki ke tufuna mu kiseera ky’Ekijjukizo?
1 Omukolo gw’Ekijjukizo ogunaabaawo ku Lwokubiri, Maaki 26, gujja kutuwa akakisa okwoleka essanyu lyaffe olw’ekinunulo Katonda kye yawaayo okusobola okutulokola. (Is. 61:10) Kyokka ng’omukolo ogwo tegunnabaawo, bwe tunaaba abasanyufu kijja kutuyamba okugweteekerateekera obulungi. Mu ngeri ki?
2. Kiki ekitukubiriza okweteekerateekera omukolo gw’Ekijjukizo?
2 Okweteekerateekera Omukolo Ogwo: Wadde ng’omukolo gw’Ekijjukizo guba mutonotono, mukulu nnyo era tusaanidde okugweteekerateekera nga bukyali. (Nge. 21:5) Ekiseera n’ekifo ekisaanira omukolo ogwo we gunaabeera birina okusalibwawo nga bukyali, era ekifo ekyo kirina okuyonjebwa n’okutegekebwa obulungi. Omugaati n’envinnyo ebituufu birina okufunibwa. Omwogezi alina okutegeka obulungi, era abanaayisa obubonero n’abanaayaniriza abagenyi balina okuweebwa obulagirizi. Mu butuufu, mu kiseera kino bingi ku byo birina okuba nga bimaze okukolebwa. Tufuba okweteekerateekera obulungi omukolo ogwo omutukuvu olw’okuba tusiima ekinunulo ekyaweebwayo ku lwaffe.—1 Peet. 1:8, 9.
3. Ng’omukolo gw’Ekijjukizo gugenda gusembera, tusobola tutya okuteekateeka emitima gyaffe?
3 Okuteekateeka Omutima: Kikulu nnyo okuteekateeka emitima gyaffe tusobole okutegeera ensonga lwaki omukolo gw’Ekijjukizo mukulu nnyo. (Ezer. 7:10) N’olwekyo, kyetaagisa okufuna akadde okugoberera enteekateeka ey’okusoma Bayibuli okw’enjawulo okukwata ku Kijjukizo n’okufumiitiriza ku ebyo Yesu bye yayitamu ng’anaatera okumaliriza obuweereza bwe obw’oku nsi. Okufumiitiriza ku ngeri Yesu gye yeefiirizaamu, kijja kutukubiriza okumukoppa.—Bag. 2:20.
4. Bw’olowooza ku miganyulo gy’ekinunulo, guluwa ogusinga okukuleetera essanyu?
4 Okufa kwa Kristo kugulumiza obufuzi bwa Yakuwa. Kutusumulula okuva mu kibi n’okufa. (1 Yok. 2:2) Kutusobozesa okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda n’okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. (Bak. 1:21, 22) Kutuyamba okwongera okuba abamalirivu okutuukiriza obweyamo bwe twakola nga twewaayo eri Yakuwa n’okusigala nga tuli bayigirizwa ba Kristo abanywevu. (Mat. 16:24) Bw’oneeteekateeka obulungi era n’obaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo ojja kufuna essanyu lingi.