Otandise Okwetegekera Omukolo gw’Ekijjukizo?
Nga Nisaani 13 mu mwaka 33 E.E., Yesu yali akimanyi nti anaatera okuttibwa era nti asigazza akaseera katono okubeerako awamu ne mikwano gye ab’oku lusegere. Yali agenda kukwata Embaga ey’Okuyitako eyandisembyeyo ng’ali wamu nabo ate oluvannyuma atandikewo omukolo omupya oguyitibwa eky’Ekiro kya Mukama Waffe. Kyali kyetaagisa okuteekateeka obulungi omukolo ogwo omukulu ennyo. N’olwekyo, Yesu yatuma Peetero ne Yokaana bateeketeeke ebyali byetaagisa. (Luk. 22:7-13) Mu ngeri y’emu, buli mwaka kikulu nnyo Abakristaayo ab’amazima okweteekerateekera obulungi omukolo ogwo. (Luk. 22:19) Biki bye tusaanidde okukola nga tweteekerateekera omukolo gw’Ekijjukizo ogunaabaawo nga Apuli 3?
Ababuulizi:
Kola enteekateeka ezinaakusobozesa okwenyigira mu bujjuvu mu kaweefube ow’okuyita abantu ku Kijjukizo.
Kola olukalala lw’abayizi bo aba Bayibuli, ab’eŋŋanda zo, bayizi banno, bakozi banno, n’abalala era obayite ku mukolo guno.
Goberera enteekateeka ey’okusoma Bayibuli mu kiseera ky’Ekijjukizo era ofumiitirize ku ebyo by’onooba osoma.
Tuuka awanaabeera omukolo ogwo nga bukyali osobole okwaniriza abagenyi.