LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 3/11 lup. 1
  • Ka Tulage Okusiima Kwaffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ka Tulage Okusiima Kwaffe
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Similar Material
  • “Mukolenga Bwe Mutyo” Omukolo gw’Ekijjukizo Gwa Kubaawo nga Apuli 5
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Okwoleka Okusiima olw’Ekirabo kya Katonda Ekisinga Byonna
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Yamba Abalala Okuganyulwa mu Kinunulo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Okujjukira Ekinunulo n’Omutima Ogujjudde Okusiima
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
km 3/11 lup. 1

Ka Tulage Okusiima Kwaffe

Omukolo gw’Ekijjukizo Gwa Kubaawo nga Apuli 17

1. Okusiima omuwandiisi wa zabbuli kwe yayoleka kutukwatako kutya naddala mu kiseera eky’Ekijjukizo?

1 Olw’okuba omuwandiisi wa zabbuli yakwatibwako nnyo olw’ebikolwa bya Yakuwa ebingi eby’obusaasizi n’obununuzi, yagamba nti: “Kiki kye ndisasula Mukama olw’ebirungi bye eri nze?” (Zab. 116:12) Leero, abaweereza ba Katonda balina ensonga nnyingi ezibaleetera okusiima Yakuwa. Nga wayiseewo ebyasa bingi oluvannyuma lw’ebigambo ebyo okuwandiikibwa, Yakuwa yawa abantu bonna ekirabo ekisingayo obulungi—ekinunulo. Nga tweteekerateekera omukolo gw’okujjukira okufa kwa Kristo ogunaabaawo nga Apuli 17, tulina ensonga ennungi etuleetera okulaga okusiima.—Bak. 3:15.

2. Ezimu ku nsonga ezituleetera okusiima ekinunulo ze ziruwa?

2 Emikisa Gye Tufuna Okuyitira mu Kinunulo: Okuyitira mu kinunulo, tusobola ‘okusonyiyibwa ebibi byaffe.’ (Bak. 1:13, 14) Kino kitusobozesa okusinza Yakuwa nga tulina omuntu w’omunda omuyonjo. (Beb. 9:13, 14) Tusobola okutuukirira Yakuwa mu kusaba nga tetulina kutya kwonna. (Beb. 4:14-16) Abo abakkiririza mu kinunulo balina essuubi ery’ekitalo ery’okufuna obulamu obutaggwawo!—Yok. 3:16.

3. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima Yakuwa olw’okutuwa ekinunulo?

3 Laga Okusiima: Emu ku ngeri ze tuyinza okulagamu okusiima, kwe kusoma buli lunaku n’okufumiitiriza ku Byawandiikibwa ebikwata ku Kijjukizo. Ekitundu ekiri mu Watchtower eya Febwali 1, 2011, ekirina omutwe ogugamba nti “Weeteekeddeteekedde Olunaku Olusingayo Obukulu mu Mwaka?” kyategekebwa okutuyamba okukola ekyo. Ate era tusobola okutegeeza Yakuwa okuyitira mu kusaba engeri gye tusiimamu ekinunulo. (1 Bas. 5:17, 18) Bwe tugondera ekiragiro kya Yesu nga tubaawo ku mukolo ogw’Ekijjukizo, tuba tulaga okusiima. (1 Kol. 11:24, 25) Okugatta ku ekyo, tusobola okukoppa okwagala kwa Yakuwa okw’ensusso nga tuyita abantu bangi nga bwe kisoboka okutwegattako nga tukuza omukolo guno.—Is. 55:1-3.

4. Tusaanidde kuba bamalirivu kukola ki?

4 Abaweereza ba Yakuwa abalaga okusiima, tebatwala mukolo gw’Ekijjukizo ng’olukuŋŋaana olulala lwonna. Omukolo guno lwe lukuŋŋaana olusingayo obukulu mu mwaka! Ng’omukolo gw’Ekijjukizo gusembera, ka tube bamalirivu ng’omuwandiisi wa zabbuli eyagamba nti: “Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange, So teweerabira birungi bye byonna.”—Zab. 103:2.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share