Okwoleka Okusiima olw’Ekirabo kya Katonda Ekisinga Byonna
1. Okusingira ddala lwaki tusiima nnyo Yakuwa?
1 Mu ‘birabo ebingi ebirungi’ Yakuwa by’atuwa, ekinunulo ekyaweebwayo Omwana we omwagalwa kye kibisinga byonna. (Yak. 1:17) Kitusobozesa okufuna emikisa mingi nga mw’otwalidde n’okusonyiyibwa ebibi byaffe. (Bef. 1:7) Tusiima nnyo Yakuwa olw’ekirabo kino. Mu kiseera ky’Ekijjukizo, tuba tufumiitiriza ku kirabo kino eky’omuwendo.
2. Tuyinza tutya okukulaakulanya okusiima kwaffe n’okw’ab’omu maka gaffe olw’ekinunulo?
2 Yamba ab’Omu Maka Go Beeyongere Okulaakulanya Okusiima: Okusobola okuyamba ab’omu maka go okukulaakulanya okusiima, lwaki tokozesa ekiseera eky’Okusinza kw’Amaka okw’akawungeezi, okwejjukanya ebikwata ku kinunulo mu wiiki eddirira Ekijjukizo ekinaabaawo nga Maaki 30? Era buli lunaku musomere wamu ng’amaka okusoma Baibuli okw’enjawulo okukwata ku Kijjukizo. Lowooza ku ngeri ekinunulo gye kikuganyuddemu, engeri gye kikutte ku ngeri gy’otwalamu Yakuwa, gye weetwalamu, gy’otwalamu abalala n’ebiseera eby’omu maaso. Kijja kuba kya muganyulo okwegezaamu mu nnyimba ebbiri empya ezinaayimbibwa ku Kijjukizo, oluyimba 8 ne 109.—Zab. 77:12.
3. Tuyinza tutya okulaga okusiima?
3 Engeri gye Tulagamu Okusiima: Okusiima ekinunulo kitukubiriza okubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa n’okwagala kwe okungi kwe yalaga ng’atuma Omwana we. (Zab. 145:2-7) Mu Maaki, Apuli, ne Maayi amaka agamu galaga okusiima nga gakola enteekateeka waakiri omu ku b’omu maka okuweereza nga payoniya omuwagizi. Kino bwe kiba tekisoboka, ‘mukozese bulungi buli kakisa ke mufuna’ okwongera ku biseera bye mumala mu buweereza. (Bef. 5:16) Okusiima era kujja kutukubiriza okuyamba abalala basobole okutwegattako ku mukolo gw’Ekijjukizo. (Kub. 22:17) Tandika okukola olukalala lw’abo b’oddiŋŋana, abayizi ba Baibuli, ab’eŋŋanda zo, b’okola nabo, ne baliraanwa bo b’onooyita, era weenyigire mu bujjuvu mu kaweefube ow’enjawulo ow’okugaba akapapula akayita abantu ku mukolo gw’Ekijjukizo.
4. Tuyinza tutya okukozesa ekiseera eky’Ekijjukizo mu ngeri ey’amagezi?
4 Ekiseera ky’Ekijjukizo kituwa akakisa okulaga Yakuwa okusiima kwe tulina olw’ekirabo ky’awadde abantu. Ka tukozese ekiseera kino okukulaakulanya n’okwoleka okusiima olw’ekinunulo, era ‘n’olw’obugagga bwa Kristo obutanoonyezeka.’—Bef. 3:8.