Oluyimba 109
Tendereza Omwana wa Yakuwa!
Printed Edition
1. Tendereza Yesu,
Omwana wa Yakuwa.
Ye kabaka kaakano.
Afuga na bwenkanya.
Wa kitiibwa, wa ttendo;
Wa kugulumiza,
Erinnya lya Yakuwa,
Kuba alyagala.
(CHORUS)
Tendereza Yesu
Omwana wa Katonda.
Yatikkirwa mu ggulu,
Era kati afuga!
2. Tendereza Yesu,
Oyo ’yatufiirira
Tubeere abalamu.
Twasaasirwa Katonda.
Omugole wa Kristo
Ayambadde ’byeru;
Ayonjereddwa bbaawe.
’Mbaga ya mu ggulu.
(CHORUS)
Tendereza Yesu
Omwana wa Katonda.
Yatikkirwa mu ggulu,
Era kati afuga!
(Era laba Zab.2:6; 45:3, 4; Kub. 19:8.)