LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w17 Ddesemba lup. 14-lup. 15 kat. 8
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Similar Material
  • Kuuma Obusika Bwo ng’Osalawo mu Ngeri ey’Amagezi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Yakobo Yafuna Obusika
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Emirembe Giddawo Wakati wa Yakobo ne Esawu
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Abantu ab’Eby’Omwoyo Basalawo mu Ngeri ey’Amagezi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
w17 Ddesemba lup. 14-lup. 15 kat. 8
Yakobo ng’agula ku Esawu omugabo gw’omwana omubereberye

Yakobo bwe yagula omugabo gw’omwana omubereberye kye kyamusobozesa okuba mu lunyiriri lwa Masiya?

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Mu Isirayiri ey’edda olunyiriri omwava Masiya lwalina akakwate n’omugabo ogw’omwana omubereberye?

Ebitabo byaffe bibaddenga biraga nti bwe kityo bwe kiri. Ekyo kyali kirabika ng’ekikwatagana obulungi n’ebigambo ebiri mu Abebbulaniya 12:16 awagamba nti Esawu ‘teyasiima bintu bitukuvu n’awa Yakobo omugabo gwe ogw’omwana omubereberye olw’olulya lumu.’ Kyalabika nga nti Yakobo okufuna omugabo ogw’omwana omubereberye, kye kyamuleetera okubeera mu lunyiriri olwavaamu Masiya.​—Mat. 1:2, 16; Luk. 3:23, 34.

Naye oluvannyuma lw’okwongera okwekenneenya Ebyawandiikibwa, kyeraze lwatu nti omusajja kyali tekimwetaagisa kuba mwana mubereberye okusobola okubeera mu lunyiriri lwa Masiya. Lowooza ku bukakafu buno wammanga:

Omwana omubereberye Yakobo (Isirayiri) gwe yazaala mu Leeya yali Lewubeeni. Ate omwana omubereberye Yakobo gwe yazaala mu Laakeeri yali Yusufu. Lewubeeni bwe yeeyisa obubi, omugabo gw’omwana omubereberye gwamuggibwako ne guweebwa Yusufu. (Lub. 29:31-35; 30:22-25; 35:22-26; 49:22-26; 1 Byom. 5:1, 2) Kyokka olunyiriri lwa Masiya terwayitira mu Lewubeeni oba mu Yusufu. Lwayitira mu Yuda omwana ow’okuna Yakobo gwe yazaala mu Leeya.​—Lub. 49:10.

Lukka 3:32 woogera ku basajja abalala bataano abaali mu lunyiriri lwa Masiya. Era kirabika buli omu ku bo yali mwana mubereberye. Ng’olunyiriri olwo bwe lulaga, Bowaazi yazaala Obedi ate Obedi n’azaala Yese.​—Luus. 4:17, 20-22; 1 Byom. 2:10-12.

Kyokka Dawudi omwana wa Yese si ye yali omwana omubereberye. Ye yali asembayo mu baana ba Yese ab’obulenzi omunaana. Wadde kyali kityo, olunyiriri lwa Masiya lwayitira mu Dawudi. (1 Sam. 16:10, 11; 17:12; Mat. 1:5, 6) Ate era olunyiriri lwa Masiya lwayitira mu Sulemaani wadde nga si ye yali omwana wa Dawudi omubereberye.​—2 Sam. 3:2-5.

Ekyo tekitegeeza nti okuba omwana omubereberye tekyali kikulu. Ekifo ky’omwana omubereberye kyalinga kikulu nnyo, era kitaawe bwe yafanga ye yafuukanga omutwe gw’amaka. Ate era yafunanga emigabo ebiri ku busika bwa kitaawe.​—Lub. 43:33; Ma. 21:17; Yos. 17:1.

Naye omugabo gw’omwana omubereberye gwali gusobola okuweebwa omwana omulala yenna. Ibulayimu bwe yagoba Isimayiri, omugabo gw’omwana omubereberye yaguwa Isaaka. Ate era nga bwe kiragiddwa waggulu, Lewubeeni yaggibwako omugabo gw’omwana omubereberye ne guweebwa Yusufu.

Kati ka tuddemu twekenneenye Abebbulaniya 12:16, awagamba nti: “Mwegendereze waleme kubaawo mu mmwe muntu akola eby’obugwenyufu oba atasiima bintu bitukuvu nga Esawu eyawaayo omugabo gwe ogw’omwana omubereberye olw’olulya lumu.” Ebigambo ebyo birina makulu ki?

Mu kwogera ebigambo ebyo, omutume Pawulo yali tayogera ku lunyiriri lw’obuzaale bwa Masiya. Yali yaakamala okukubiriza Abakristaayo ‘okutereeza amakubo g’ebigere byabwe.’ Ekyo bwe bandikikoze ‘tebandifiiriddwa kisa kya Katonda eky’ensusso.’ Ekisa ekyo bandikifiiriddwa singa beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. (Beb. 12:12-16) Bwe bandyenyigidde mu bikolwa eby’obugwenyufu bandibadde nga Esawu ‘ataasiima bintu bitukuvu.’

Esawu yaliwo mu kiseera, nga buli maka ge geeweerayo ebiweebwayo eri Yakuwa. N’olwekyo ayinza okuba ng’olumu n’olumu yafunanga enkizo ey’okuwaayo ebiweebwayo eri Yakuwa. (Lub. 8:20, 21; 12:7, 8; Yob. 1:4, 5) Naye olw’okuba yali yettanira nnyo ebintu eby’omubiri, Esawu yawaayo enkizo ezo zonna olw’emmere. Ayinza okuba yali tayagala kutuukibwako kubonaabona Katonda kwe yagamba nti kwandituuse ku bazzukulu ba Ibulayimu. (Lub. 15:13) Esawu yalaga nti tasiima bintu bitukuvu bwe yawasa abakazi babiri abaali batasinza Yakuwa, ekintu ekyanakuwaza ennyo bazadde be. (Lub. 26:34, 35) Esawu yali wa njawulo nnyo ku Yakobo eyafuba okulaba ng’awasa omukazi asinza Katonda ow’amazima.​—Lub. 28:6, 7; 29:10-12, 18.

Maliyamu ne Yusufu nga bali kumpi n’olutiba Yesu mw’ali

Okusinziira ku ebyo bye tulabye, kiki kye tuyinza okwogera ku lunyiriri lw’obuzaale bwa Masiya? Abamu ku abo olunyiriri lwa Masiya mwe lwayita, baali baana babereberye ate abamu tebaali. Ekyo Abayudaaya baali bakimanyi era tekyabeewuunyisa nti Kristo yali wa kuyitira mu lunyiriri lwa Dawudi, mutabani wa Yese asembayo obuto.​—Mat. 22:42.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share