BY’OYINZA OKWESOMESA
Abantu ab’Eby’Omwoyo Basalawo mu Ngeri ey’Amagezi
Soma Olubereberye 25:29-34 okumanya obanga Esawu ne Yakobo baasalawo mu ngeri ey’amagezi.
Manya ebiri mu nnyiriri ezeetooloddewo. Kiki ekyasooka okubaawo? (Lub. 25:20-28) Kiki ekyaliwo oluvannyuma?—Lub. 27:1-46.
Noonyereza ku bintu ebyogerwako. Mu biseera ebyo, omwana omubereberye omulenzi yalinanga nkizo ki era yalinanga buvunaanyizibwa ki?—Lub. 18:18, 19; w10 5/1 13.
Omusajja okuba mu lunyiriri lwa Masiya, yalina okuba nga mwana mubereberye? (w17.12 14-15)
Lowooza ku ebyo by’oyigamu era obikolereko. Lwaki enkizo ey’okuba omwana omubereberye Yakobo yali agitwala nga nkulu nnyo okusinga Esawu bwe yali agitwala? (Beb. 12:16, 17; w03 10/15 28-29) Yakuwa yali atwala atya ab’oluganda abo ababiri, era lwaki? (Mal. 1:2, 3) Kiki Esawu kye yalina okukyusaamu okusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi?
Weebuuze, ‘Okusinza Yakuwa nkitwala nga kikulu nnyo bwe mba nga nsalawo engeri gye nnaakozesamu ebiseera byange mu wiiki, gamba nga nteekawo ebiseera eby’okusinza kw’amaka?’