Kuuma Obusika Bwo ng’Osalawo mu Ngeri ey’Amagezi
“Mukyawe ekibi, munywerere ku kirungi.”—BAR. 12:9.
1, 2. (a) Kiki ekyakuyamba okusalawo okuweereza Katonda? (b) Bibuuzo ki ebikwata ku busika bwaffe ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
WALIWO abantu bangi abasazeewo okuweereza Yakuwa Katonda n’okugoberera Yesu Kristo. (Mat. 16:24; 1 Peet. 2:21) Omuntu bwe yeewaayo eri Katonda aba asazeewo okukola ekintu ekikulu ennyo. Ffenna bwe twali tetunnasalawo kuweereza Yakuwa twasooka kuyiga Bayibuli era ne tutegeera bulungi amazima agagirimu. Twayiga ebintu bingi ebikwata ku busika Yakuwa bw’ajja okuwa abo abafuba ‘okumumanya n’okumanya oyo gwe yatuma Yesu Kristo.’—Yok. 17:3; Bar. 12:2.
2 Okusobola okusigala nga tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa, tulina okukakasa nti bulijjo tusalawo mu ngeri emusanyusa. Ekitundu kino kigenda kutuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Obusika bwaffe kye ki? Tusaanidde kubutwala tutya? Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okufuna obusika obwo? Kiki ekinaatuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi?
OBUSIKA BWAFFE KYE KI?
3. (a) Busika ki abaafukibwako amafuta bwe bajja okufuna? (b) Busika ki ‘ab’endiga endala’ bwe bajja okufuna?
3 Abakristaayo abamu balina essubi ery’okufuna “obusika obutavunda, obulongoofu era obutaggwaawo,” ng’eno ye nkizo ey’ekitalo ey’okufugira awamu ne Kristo mu ggulu. (1 Peet. 1:3, 4) Okusobola okufuna obusika obwo, Abakristaayo abo balina ‘okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri.’ (Yok. 3:1-3) Ate kiri kitya eri ‘ab’endiga endala,’ abakolera awamu n’abaafukibwako amafuta mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda? (Yok. 10:16) Ab’endiga endala bajja kufuna obusika Adamu ne Kaawa bwe baafiirwa. Bajja kufuna obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi, omutajja kuba kubonaabona, kufa, wadde okukungubaga. (Kub. 21:1-4) Yesu bwe yali ku muti ogw’okubonaabona yagamba omumenyi w’amateeka nti: “Mazima nkugamba leero nti, Oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.”—Luk. 23:43.
4. Mikisa ki gye tulina leero?
4 Kyokka obusika bwaffe buzingiramu n’egimu ku mikisa gye tulina leero. Olw’okuba tukkiririza mu ‘kinunulo Kristo Yesu kye yasasula,’ tulina emirembe mu mutima era tulina enkolagana ennungi ne Katonda. (Bar. 3:23-25) Tutegeera bulungi ebisuubizo ebiri mu Kigambo kya Katonda. Tulina oluganda olw’ensi yonna. Era tulina enkizo ey’okuba Abajulirwa ba Yakuwa. Eyo ye nsonga lwaki obusika bwaffe tubutwala nga bwa muwendo nnyo.
5. Kiki Sitaani ky’agezaako okuleetera abantu ba Katonda okukola, era kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli banywevu nga tuziyiza enkwe ze?
5 Okusobola okulaba nti tetufiirwa busika bwaffe obw’ekitalo, tulina okufuba okwewala emitego gya Sitaani. Bulijjo Sitaani abadde agezaako okuleetera abantu ba Katonda okukola ebintu ebiyinza okubaleetera okufiirwa obusika bwabwe. (Kubal. 25:1-3, 9) Olw’okuba Sitaani akimanyi nti asigazza akaseera katono, akola butaweera okutubuzaabuza. (Soma Okubikkulirwa 12:12, 17.) Bwe tuba ab’okusigala nga tuli ‘banywevu nga tuziyiza enkwe z’Omulyolyomi,’ tulina okweyongera okutwala obusika bwaffe ng’ekintu eky’omuwendo ennyo. (Bef. 6:11) Ku nsonga eno, ka tulabe kye tuyigira ku mutabani wa Isaaka, Esawu.
TOBA NGA ESAWU
6, 7. Esawu y’ani, era busika ki bwe yali agenda okufuna?
6 Emyaka nga 4,000 emabega, Isaaka ne Lebbeeka baazaala abalongo, Esawu ne Yakobo. Abalongo abo bwe baagenda bakula, engeri zaabwe n’ebintu bye baasalangawo okukola byabanga bya njawulo. ‘Esawu yafuuka omuyizzi omukugu, omusajja ow’oku ttale, ate ye Yakobo yali musajja ataliiko kya kunenyezebwa, ng’abeera mu weema.’ (Lub. 25:27, NW) Yakobo yayitibwa omusajja ataliiko kya kunenyezebwa olw’okuba yali mwesigwa era yeewalanga okukola ebintu ebibi.
7 Esawu ne Yakobo bwe baali ba myaka 15, jjajjaabwe Ibulayimu yafa. Naye ekisuubizo Yakuwa kye yawa Ibulayimu tekyavaawo. Oluvannyuma, Yakuwa yabuulira Isaaka ku kisuubizo ekyo n’amugamba nti amawanga gonna ag’oku nsi gandiweereddwa omukisa okuyitira mu zzadde lya Ibulayimu. (Soma Olubereberye 26:3-5.) Ekisuubizo ekyo kyalaga nti Masiya, “ezzadde” eryogerwako mu Olubereberye 3:15, yandibadde omu ku bazzukulu ba Ibulayimu. Olw’okuba Esawu ye yali mutabani wa Isaaka omubereberye, mu ye ezzadde eryasuubizibwa mwe lyandiyitidde. Mu butuufu, Esawu yali agenda kufuna obusika obw’ekitalo! Naye ddala Esawu yakiraga nti yali asiima obusika obwo?
Tolagajjalira busika bwo obw’eby’omwoyo
8, 9. (a) Kiki Esawu kye yasalawo okukola? (b) Kiki oluvannyuma Esawu kye yategeera, era yakola ki?
8 Lumu Esawu bwe yakomawo ng’ava ku ttale, yasanga Yakobo “afumba omugoyo.” Esawu yamugamba okumuwa ku mugoyo gwe yali afumbye kubanga yali akooye nnyo. Yakobo yamuddamu nti: “Nguza leero eby’obukulu bwo.” Kiki Esawu kye yasalawo okukola? Yagamba nti: “Eby’obukulu biringasa bitya?” Esawu omugoyo gwamusingira omugabo gwe ng’omwana omubereberye! Okusobola okukakasa nti Esawu yali amuguzizza omugabo gwe, Yakobo yamugamba nti: “Ndayirira leero.” Nga tasoose na kufumiitiriza, Esawu yatunda omugabo gwe. Oluvannyuma lw’ekyo, “Yakobo [y]awa Esawu emmere n’omugoyo gw’ebijanjaalo; n’alya, n’anywa, n’agolokoka, ne yeegendera: bw’atyo Esawu n’anyooma eby’obukulu bwe.”—Lub. 25:29-34.
9 Isaaka bwe yali anaatera okufa, Lebbeeka yafuba okulaba nti Yakobo afuna obusika Esawu bwe yali amuguzizza. Esawu bwe yakiraba nti yakola nsobi okutunda obusika bwe, yeegayirira Isaaka n’amugamba nti: “Nsabira nze, era nange, ai kitange. . . . Tonterekedde nange mukisa?” Isaaka bwe yagamba Esawu nti yali tasobola kuggya ku Yakobo mukisa gwe yali amuwadde, Esawu yakaaba nnyo.—Lub. 27:30-38.
10. Yakuwa yatwala atya Esawu ne Yakobo, era lwaki?
10 Ebyo bye tusoma ku Esawu bituyigiriza ki? Esawu yakiraga nti okukkusa okwegomba kwe okw’omubiri kyali kikulu nnyo gy’ali okusinga emikisa gye yali ajja okufuna okuyitira mu busika bwe. Esawu yali tatwala mugabo gwe ng’omwana omubereberye ng’ekintu ekikulu era yali tayagala Katonda n’omutima gwe gwonna. Era teyalowooza ku ngeri ekyo kye yasalawo okukola gye kyandikutte ku baana be ne bazzukulu be. Kyokka ye Yakobo obusika bwe yali abutwala ng’ekintu eky’omuwendo ennyo. Ng’ekyokulabirako, Yakobo bwe yali alonda omukazi ow’okuwasa, yakolera ku magezi bazadde be ge baamuwa. (Lub. 27:46–28:3) Wadde ng’ekyo tekyali kyangu, okukolera ku magezi ago kyamuviiramu emikisa. Yafuuka omu ku bajjajja ba Masiya. Yakuwa yatwala atya Esawu ne Yakobo? Ng’ayitira mu nnabbi Malaki, Yakuwa yagamba nti: “Nnamwagala Yakobo; naye Esawu nnamukyawa.”—Mal. 1:2, 3.
11. (a) Ebyo bye tusoma ku Esawu bituyigiriza ki? (b) Bwe yali ayogera ku ekyo Esawu kye yakola, lwaki Pawulo yayogera ne ku bwenzi?
11 Ebyo bye tusoma ku Esawu birina kinene kye bituyigiriza. Bwe yali awandiikira Bakristaayo banne, omutume Pawulo yagamba nti: “Waleme kubaawo mwenzi wadde atasiima bintu bitukuvu nga Esawu eyawaayo obusika bwe ng’omwana omubereberye olw’olulya lumu.” (Beb. 12:16) Ebigambo ebyo naffe bitukwatako. Tulina okweyongera okusiima ebintu ebitukuvu kituyambe obutatwalirizibwa kwegomba kw’omubiri ekintu ekiyinza okutuleetera okufiirwa obusika bwaffe obw’eby’omwoyo. Bwe yali ayogera ku ekyo Esawu kye yakola, lwaki Pawulo yayogera ne ku bwenzi? Kubanga, okufaananako Esawu, omuntu bw’akkiriza okwegomba kw’omubiri okumufuga, kiba kyangu okulekera awo okusiima ebintu ebitukuvu, bw’atyo n’akola ebibi eby’amaanyi, gamba ng’obwenzi.
TEEKATEEKA OMUTIMA GWO KATI
12. (a) Sitaani atukema atya? (b) Byakulabirako ki okuva mu Bayibuli ebisobola okutuyamba okuziyiza ebikemo?
12 Ng’abaweereza ba Yakuwa twewala okweteeka mu mbeera eziyinza okutuleetera okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Mu kifo ky’ekyo, tusaba Yakuwa Katonda atuyambe obutekkiriranya nga waliwo omuntu agezaako okutusendasenda okukola ebintu ebibi. (Mat. 6:13) Wadde nga tufuba okusigala nga tuli beesigwa mu nsi eno ennyonoonefu, Sitaani akola butaweera okulaba nti atuleetera okukola ebintu ebiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. (Bef. 6:12) Sitaani ye katonda w’enteekateeka eno ey’ebintu, era amanyi engeri y’okukozesaamu obunafu bwaffe okutuleetera okukola ebintu ebibi. (1 Kol. 10:8, 13) Watya singa weesanga mu mbeera ng’okemebwa okukola ekintu ekikyamu? Onookola ki? Onooba nga Esawu eyasalawo nga tasoose na kulowooza? Oba onooba nga mutabani wa Yakobo, Yusufu, eyaziyiza ekikemo era n’afuba okwewala embeera eyali eyinza okumuleetera okugwa mu kikemo?—Soma Olubereberye 39:10-12.
13. (a) Leero, ab’oluganda bangi beeyisizza batya nga Yusufu, naye abamu beeyisizza batya nga Esawu? (b) Kiki kye tulina okukola okusobola okwewala okweyisa nga Esawu?
13 Waliwo baganda baffe ne bannyinaffe bangi abeesanze mu mbeera nga balina okusalawo okuba nga Esawu oba nga Yusufu. Bangi ku bo basazeewo okweyisa mu ngeri ey’amagezi ne basanyusa omutima gwa Yakuwa. (Nge. 27:11) Kyokka waliwo bakkiriza bannaffe abamu abasazeewo okweyisa nga Esawu, ne balemererwa okukuuma obusika bwabwe obw’eby’omwoyo. Bangi ku b’oluganda abakangavvulwa oba abagobebwa mu kibiina buli mwaka baba beenyigidde mu bikolwa eby’obugwenyufu. N’olwekyo, kikulu nnyo buli omu ku ffe okuteekateeka omutima gwe kati, asobole okuziyiza ebikemo by’ayinza okufuna mu biseera eby’omu maaso! (Zab. 78:8) Kati ka tulabe ebintu bibiri ebiyinza okutuyamba okweteekateeka okuziyiza ebikemo n’okusalawo mu ngeri ey’amagezi.
OKULOWOOZA N’OKWETEEKATEEKA
Okusoma Ekigambo kya Katonda kisobola okutuyamba okuziyiza ebikemo
14. Bibuuzo ki bye tuyinza okwebuuza ebinaatuyamba ‘okukyawa ekibi, tunywerere ku kirungi’?
14 Ekintu ekisooka kye tulina okukola kwe kulowooza ku ebyo ebiyinza okuva mu ebyo bye tusalawo okukola. Bwe tuba nga ddala twagala Yakuwa tujja kusiima obusika bwaffe obw’eby’omwoyo. Gwe ate oba, bwe tubaako omuntu gwe twagala, tufuba okumusanyusa era ne twewala okumunyiiza. N’olwekyo, tusaanidde okulowooza ku ebyo ebiyinza okuvaamu singa tukola ekintu ekibi. Tusaanidde okwebuuza: ‘Yakuwa anaawulira atya nga nkoze ekibi? Ab’omu maka gange banaawulira batya? Kinaakwata kitya ku b’oluganda mu kibiina? Tekyesittaze abalala?’ (Baf. 1:10) Era tusaanidde okwebuuza: ‘Nkimanyi nti ebizibu bye nnaafuna nga nneenyigidde mu bikolwa eby’obugwenyufu bijja kuba bingi nnyo okusinga essanyu ery’akaseera obuseera lye nnaafuna? Ddala nnandyagadde okuba nga Esawu, eyakaaba ennyo oluvannyuma lw’okulaba ebyo ebyali bivudde mu nsobi gye yali akoze?’ (Beb. 12:17) Okufumiitiriza ku bibuuzo ng’ebyo kijja kutuyamba ‘okukyawa ekibi, tunywerere ku kirungi.’ (Bar. 12:9) Bwe tuba nga ddala twagala Yakuwa tujja kufuba okukuuma obusika bwaffe.—Zab. 73:28.
15. Kiki ekinaatuyamba okweteekateeka okuziyiza ebikemo?
15 Ekintu eky’okubiri kye tuyinza okukola kwe kweteekateeka okuziyiza ebikemo. Yakuwa atuwadde ebintu bingi ebisobola okutuyamba okweteekateeka okuziyiza ebikemo. Muno mwe muli okusoma Bayibuli, okubaawo mu nkuŋŋaana, okubuulira, n’okusaba. (1 Kol. 15:58) Bwe tubuulira Yakuwa ebyo ebituli ku mutima era ne twenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira, tuba tweteekateeka okuziyiza ebikemo. (Soma 1 Timoseewo 6:12, 19.) Tulina okukola ebintu ebyo bwe tuba ab’okuziyiza ebikemo. (Bag. 6:7) Ekyo tukirabira mu ebyo bye tusoma mu Engero essuula ey’okubiri.
‘GANOONYENGA’
16, 17. Kiki ekinaatuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi?
16 Engero essuula 2 etukubiriza okunoonya amagezi n’okutegeera. Amagezi n’okutegeera bijja kutuyamba okwawula ekirungi n’ekibi, era bijja kutuyamba obutakkiriza kufugibwa kwegomba okubi. Kyokka okusobola okufuna amagezi n’okutegeera, kitwetaagisa okufuba ennyo. Bayibuli egamba nti: “Mwana wange, bw’onokkirizanga ebigambo byange, n’oterekanga ebiragiro byange ewuwo; n’okutega n’oteganga okutu kwo eri amagezi n’ossangayo omutima gwo eri okutegeera; weewaawo, bw’onookaabiranga okumanya, n’oliriranga okutegeera. Bw’onooganoonyanga nga ffeeza, n’ogakenneenyanga ng’eby’obugagga ebyakwekebwa; kale lw’olitegeera okutya Mukama, n’ovumbula okumanya Katonda. Kubanga Mukama awa amagezi; mu kamwa ke mwe mufuluma okumanya n’okutegeera.”—Nge. 2:1-6.
17 Bwe tukolera ku ebyo ebiri mu nnyiriri ezo, kijja kutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Bwe tukkiriza ebigambo bya Yakuwa okutuluŋŋamya, ne tumusaba atuwe obulagirizi bwe, era ne tunoonya okumanya okukwata ku Katonda ng’abanoonya eby’obugagga ebyakwekebwa, tujja kusobola okuziyiza ebikemo.
18. Kiki ky’omaliridde okukola, era lwaki?
18 Abo bonna abafuba okunoonya okumanya, amagezi, n’okutegeera, Yakuwa abayamba okubifuna. Bwe tuneeyongera okunoonya ebintu ebyo era ne tubikozesa mu bulamu bwaffe, kijja kutuyamba okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa Katonda era ekyo kijja kutuyamba okuziyiza ebikemo. Okwagala Yakuwa n’okumutya bijja kutuyamba okwewala okukola ebintu ebibi. (Zab. 25:14; Yak. 4:8) Okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa n’okukolera ku magezi g’atuwa, bijja kutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi tusobole okumusanyusa n’okukuuma obusika bwaffe.