LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • my olugero 17
  • Abalongo Abaali ab’Enjawulo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abalongo Abaali ab’Enjawulo
  • Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Similar Material
  • Yakobo Yafuna Obusika
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Emirembe Giddawo Wakati wa Yakobo ne Esawu
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Kuuma Obusika Bwo ng’Osalawo mu Ngeri ey’Amagezi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Yakuwa Ye “Katonda Awa Emirembe”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
See More
Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
my olugero 17

OLUGERO 17

Abalongo Abaali ab’Enjawulo

ABALENZI bano bombi ba njawulo, si bwe kiri? Omanyi amannya gaabwe? Omuyizzi ye Esawu, ate omulenzi alabirira endiga ye Yakobo.

Esawu ne Yakobo baali baana balongo aba Isaaka ne Lebbeeka. Taata waabwe Isaaka, yali ayagala nnyo Esawu, kubanga yali muyizzi mulungi era ng’aleetera ab’awaka ey’okulya. Naye Lebbeeka yali asinga kwagala Yakobo kubanga yali mulenzi mukkakkamu era wa mirembe.

Jjajjaabwe Ibulayimu yali akyali mulamu, era tuyinza okuteebereza engeri Yakobo gye yanyumirwanga ennyo okumuwuliriza ng’ayogera ku Yakuwa. Ibulayimu yalwaddaaki n’afa ng’alina emyaka 175, ng’abalongo balina emyaka 15.

Esawu bwe yaweza emyaka 40 yawasa abakazi babiri okuva mu nsi y’e Kanani. Kino kyanakuwaza nnyo Isaaka ne Lebbeeka, kubanga abakazi abo baali tebasinza Yakuwa.

Lumu waliwo ekyabaawo ekyaleetera Esawu okusunguwalira muganda we Yakobo. Ekiseera kyatuuka Isaaka awe omwana we omukulu omukisa. Olw’okuba Esawu yali asinga ku Yakobo obukulu, Esawu yasuubira okufuna omukisa ogwo. Naye, Esawu yali yaguza dda Yakobo obwannannyini ku kufuna omukisa. N’ekirala, ng’abalenzi ababiri ­bazaaliddwa, Katonda yali agambye nti Yakobo ye yandifunye omukisa. Era kino kye kyabaawo. Isaaka omukisa yaguwa mutabani we Yakobo.

Oluvannyuma, Esawu bwe yakitegeera yanyiigira nnyo Yakobo. Yanyiiga nnyo n’atuuka n’okugamba nti yali agenda kutta Yakobo. Lebbeeka bwe yakiwulira, yeeraliikirira nnyo. N’olwekyo n’agamba omwami we Isaaka nti: ‘Kijja kuba kibi nnyo singa ne Yakobo awasa omu ku bakazi bano ab’omu Kanani.’

N’olwekyo, Isaaka n’ayita mutabani we Yakobo era n’amugamba: ‘Towasa mukazi kuva mu Kanani. Wabula, genda mu nnyumba ya jjajjaawo Bessweri e Kalani. Wasa omu ku bawala ba mutabani we Labbaani.’

Yakobo yawuliriza kitaawe, era mangu ddala n’atandika okutambula olugendo oluwanvu okugenda ab’eŋŋanda ze gye baali babeera mu Kalani.

Olubereberye 25:5-11, 20-34; 26:34, 35; 27:1-46; 28:1-5; Abebbulaniya 12:16, 17.

Ebibuuzo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share