LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 12 lup. 34
  • Yakobo Yafuna Obusika

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakobo Yafuna Obusika
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Abalongo Abaali ab’Enjawulo
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Kuuma Obusika Bwo ng’Osalawo mu Ngeri ey’Amagezi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Emirembe Giddawo Wakati wa Yakobo ne Esawu
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Yakuwa Ye “Katonda Awa Emirembe”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 12 lup. 34
Yakobo ng’awa Esawu essowaani y’emmere asobole okumuwa omugabo gwe

ESSOMO 12

Yakobo Yafuna Obusika

Isaaka ne Lebbeeka nga bali n’abaana baabwe abalongo, Yakobo ne Esawu

Isaaka yalina emyaka 40 we yawasiza Lebbeeka. Isaaka yali ayagala nnyo Lebbeeka. Ekiseera bwe kyayitawo, baazaala abaana ab’obulenzi babiri abalongo.

Omulongo omukulu yali ayitibwa Esawu ate omuto yali ayitibwa Yakobo. Esawu yali ayagala nnyo okubeera ku ttale era yali amanyi okuyigga. Naye Yakobo ye yali ayagala nnyo okubeera awaka.

Mu biseera ebyo, omusajja bwe yafanga, omwana we ow’obulenzi asinga obukulu ye yaweebwanga ekitundu ekisinga obunene eky’ettaka ne ssente ezisinga obungi. Ebyo bye byali biyitibwa obusika. Kyokka mu maka ga Isaaka obusika bwali buzingiramu n’ebintu Yakuwa bye yasuubiza Ibulayimu. Ebyo Yakuwa bye yasuubiza Ibulayimu, Esawu yali tabitwala ng’ebikulu naye ye Yakobo yali akimanyi nti byali bikulu nnyo.

Yakobo ne Esawu

Lumu Esawu yakomawo awaka ng’akooye nnyo ng’ava okuyigga. Yawunyirwa akawoowo k’emmere Yakobo gye yali afumba, n’agamba Yakobo nti: ‘Enjala enzita! Mpa ku mmere eyo!’ Yakobo yamuddamu nti: ‘Okukuwa ku mmere eno, sooka onkakase nti obusika bwo obumpadde.’ Esawu yamuddamu nti: ‘Obusika bungasa ki! Butwale. Enjala yannumye dda, mpa emmere ndye.’ Olowooza ekyo Esawu kye yakola kyali kya magezi? Nedda. Esawu yawaayo ekintu eky’omuwendo ennyo olw’essowaani y’emmere emu.

Isaaka bwe yali ng’akaddiye nnyo, ekiseera kyali kituuse awe mutabani we asinga obukulu omukisa. Naye Lebbeeka yayamba Yakobo, eyali omuto ku Esawu, okufuna omukisa ogwo. Esawu bwe yakimanya nti Yakobo gwe bawadde omukisa ogwo, yanyiiga nnyo era n’ayagala okumutta. Isaaka ne Lebbeeka balina kye baakolawo okuwonya Yakobo okuttibwa. Baamugamba nti: ‘Genda obeere ne kojja wo Labbaani okutuusa Esawu lw’alikkakkana.’ Yakobo yawuliriza bazadde be n’agenda.

“Kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna naye n’afiirwa obulamu bwe? Kiki ddala omuntu ky’ayinza okuwaayo okununula obulamu bwe?”​—Makko 8:36, 37

Ebibuuzo: Esawu yali muntu wa ngeri ki? Yakobo yali muntu wa ngeri ki? Lwaki Yakobo yaweebwa omukisa ogwalina okuweebwa Esawu?

Olubereberye 25:20-34; 27:1–28:5; Abebbulaniya 12:16, 17

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share