LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 3/14 lup. 2
  • Onookozesa Akakisa Kano?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Onookozesa Akakisa Kano?
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Similar Material
  • Okwoleka Okusiima olw’Ekirabo kya Katonda Ekisinga Byonna
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Ka Tulage Okusiima Kwaffe
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • “Mukolenga Bwe Mutyo” Omukolo gw’Ekijjukizo Gwa Kubaawo nga Apuli 5
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • “Okwagala kwa Kristo Kutusindiikiriza”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
km 3/14 lup. 2

Onookozesa Akakisa Kano?

Ekiseera ky’Ekijjukizo Kijja Kutusobozesa Okulaga nti Tusiima

1. Kakisa ki ke tunaafuna mu kiseera ky’Ekijjukizo?

1 Omukolo gw’Ekijjukizo ogunaabaawo nga Apuli 14 gujja kutuwa akakisa okulaga nti tusiima ekyo Yakuwa kye yatukolera. Ebyo ebiri mu Lukka 17:11-18 biraga bulungi engeri Yakuwa ne Yesu gye bawuliramu bwe tubasiima. Ku bagenge ekkumi abaawonyezebwa, omu yekka ye yakomawo ne yeebaza Yesu. Mu biseera eby’omu maaso, ekinunulo kijja kusobozesa abantu okuwonyezebwa endwadde zonna, basobole okuba abalamu emirembe gyonna! Tewali kubuusabuusa nti mu kiseera ekyo tujja kwebazanga Yakuwa buli lunaku olw’ebirungi by’anaabanga atukoledde. Naye mu kiseera ky’Ekijjukizo, tunaalaga tutya nti tusiima?

2. Kiki ekinaatuleetera okusiima ekinunulo?

2 Ekinaatuleetera Okusiima: Ekinaatuleetera okusiima ekinunulo, kwe kugoberera enteekateeka y’okusoma Bayibuli okw’enjawulo mu kiseera ky’Ekijjukizo. Enteekateeka eyo esangibwa mu appendix B12 mu Bayibuli yaffe ey’Olungereza eya New World Translation eyafulumizibwa gye buvuddeko, mu kalenda, ne mu katabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku. Tukubirizibwa okugoberera enteekateeka eyo ey’okusoma Bayibuli okw’enjawulo mu kiseera ky’Ekijjukizo ng’amaka. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kweyongera okusiima ekinunulo. Ate era kijja kutuyamba okweyongera okutambuza obulamu bwaffe mu ngeri esanyusa Yakuwa.​—2 Kol. 5:14, 15; 1 Yok. 4:11.

3. Biki bye tuyinza okukola mu kiseera ky’Ekijjukizo okulaga nti tusiima ekinunulo?

3 Laga nti Osiima: Omuntu bwe bamukolera ekirungi asaanidde okulaga nti asiimye. (Bak. 3:15) Omu ku bagenge ekkumi abaawonyezebwa yanoonya Yesu n’amwebaza. Ate era alina okuba nga yabuulirako abalala ku ngeri gye yali awonyezeddwamu. (Luk. 6:45) Okulaga nti tusiima ekinunulo kya Yesu, tusaanidde okwenyigira mu bujjuvu mu kaweefube ow’okuyita abantu ku Kijjukizo. Engeri endala gye tusobola okulagamu nti tusiima kwe kwongera ku biseera bye tumala nga tubuulira oba okuweereza nga bapayoniya abawagizi mu kiseera ky’Ekijjukizo. Ate era bwe tutuuka nga bukyali ne twaniriza abagenyi era ne tuddamu ebibuuzo bye bayinza okuba nabyo, nakyo kiba kiraga nti tusiima ekinunulo.

4. Mu kiseera ky’ekijjukizo, lwaki twandifubye okulaga nti tusiima Ekinunulo?

4 Ekijjukizo kino kye kinaasembayo? (1 Kol. 11:26) Tetumanyi. Naye bwe kinaggwa, akakisa ke tufunye okulaga nti tusiima ekinunulo kajja kuba tekakyaliwo. Onookozesa akakisa ako? Ebigambo byaffe n’ebyo bye tufumiitirizaako ka bisanyuse Yakuwa, oyo eyatuwa ekirabo ky’ekinunulo.​—Zab. 19:14.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share