Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 17
WIIKI ETANDIKA MAAKI 17
Oluyimba 113 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 4 ¶10-18 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Olubereberye 43-46 (Ddak. 10)
Na. 1: Olubereberye 44:18-34 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Baani Abanaazuukizibwa Okubeera ku Nsi?—rs-E lup. 339 ¶3–lup. 340 ¶3 (Ddak. 5)
Na. 3: Yakuwa Yekka y’Alina Okusinzibwa—td 5C (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 15: Beera Mwegendereza ng’Obuulira. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 197, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 199, akatundu 5. Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi addamu oyo atayagala kuwuliriza bubaka bwaffe naye nga teyeegendereza. Laga ekyokulabirako ekirala ng’omubuulizi addamu omuntu y’omu naye ng’akikola n’obwegendereza.
Ddak. 15: “Onookozesa Akakisa Kano?” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Saba abawuliriza boogere ku nteekateeka yaabwe ey’okusoma Bayibuli okw’enjawulo mu kiseera ky’Ekijjukizo. Bategeeze enteekateeka ezikoleddwa mu kibiina kyammwe ezikwata ku mukolo gw’Ekijjukizo.
Oluyimba 8 n’Okusaba