Kozesa Akatabo Sinza Katonda Okuyigiriza Abantu Baibuli
Akatabo Sinza Katonda Omu ow’Amazima kaategekebwa okuyamba abappya okukulaakulana mu mazima era n’okubayamba okweyongerera ddala okusiima Yakuwa n’ekibiina kye. Kayinza okukozesebwa ng’akatabo ak’okubiri mu kuyiga n’abayizi ba Baibuli. Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjuuni 2000, ku lupapula 4, kannyonnyola: “Bwe kyeyoleka nti omuntu akulaakulana, wadde mpolampola, era nti yeeyongera okusiima by’ayiga, weeyongere okuyiga naye Baibuli mu katabo ak’okubiri oluvannyuma lw’okumaliriza brocuwa Atwetaagisa n’akatabo Okumanya. . . . Mu buli ngeri, brocuwa Atwetaagisa n’akatabo Okumanya bye birina okusooka okusomebwa. Omuyizi, okuddiŋŋana, era n’ebiseera ebiweereddwayo okwongera mu maaso okuyiga okwo bisaanidde okubalibwa n’okuteekebwa ku lipoota, ka kibe nti omuyizi abatizibwa nga tannamalako katabo ak’okubiri.”
Ani omulala ayinza okuganyulwa mu kuyigirizibwa mu katabo Sinza Katonda? Ekitundu kye kimu kyongera ne kigamba: “Singa olinayo omuntu gw’omanyi eyasomako akatabo [Atwetaagisa ne] Okumanya ebiseera ebiyise naye n’atakulaakulana kutuuka ku kwewaayo n’okubatizibwa, oyinza okumubuuza obanga yandyagadde okuddamu okuyigirizibwa Baibuli.” Ka tufube mu ngeri ey’enjawulo okutandika okuyiga n’abalinga abo mu katabo Sinza Katonda mu Apuli.