LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/03 lup. 8
  • Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
km 4/03 lup. 8

Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda

Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki eya Apuli 28, 2003. Omulabirizi akubiriza essomero ajja kukubiriza essomero mu ddakiika 30 nga lyesigamiziddwa ku ebyo ebyasomebwa okuva mu wiiki eya Maaki 3 okutuuka ku Apuli 28, 2003. [Eby’okwetegerezebwa: Bwe watabaawo kijuliziddwa oluvannyuma lw’ekibuuzo, kijja kukwetaagisa okukola okunoonyereza okukwo okusobola okufuna eky’okuddamu.​—Laba ekitabo Ministry School, emp. 36-7.]

ENSONGA EZ’OKWOGERAKO

1. Nsonga ki eziyinza okuleetera omuntu okusoma n’okwogera ng’asikatira? [be lup. 93]

2. Kituufu oba Kikyamu: Okusiriikiriramu awali obubonero kulina okwewalibwa, kubanga kuyinza okuleetera ebirowoozo by’abantu okuwugulibwa. Nnyonnyola.

3. Lwaki kikulu omwogezi oba asoma okukkaatiriza we kisaanira? (Nek. 8:8) [be lup. 101]

4. Omuntu ayinza atya okuyiga okukkaatiriza mu ngeri esaanira? [be mpa. 102-3]

5. Nsonga ki enkulu ezirina okuggumizibwa ng’osoma ekitabo mu ddoboozi eriwulikika ng’oyigiriza omuyizi wa Baibuli oba ng’osoma mu lukuŋŋaana lw’ekibiina? [be lup. 105]

EMBOOZI 1

6. Kiki abazadde kye bayinza okukola okutendeka abaana baabwe “bawulire, era bayige” nga bali mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo? (Ma. 31:12) [be p. 16]

7. Olusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo kye ki? [w01 3/1 emp. 8-10]

8. Mu ngeri ki Engero 8:1-3 gye walaga nti abantu bonna basobola okufuna amagezi agava eri Katonda, era okusinziira ku Abakkolosaayi 2:3, gayinza kufunibwa wa? [w01 3/15 emp. 25, 28]

9. Tusobola tutya okumanyisa erinnya lya Katonda? (Yok. 17:6) [be emp. 273-5]

10. Nsonga ki enkulu abantu ze beetaaga okumanya ezikwata ku “mawulire amalungi ag’Obwakabaka”? (Mat. 24:14) [be emp. 279-80] [be

OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI

11. (a) Mu kyasa ekyasooka, “eky’omuzizo” ekyogerwako mu Makko 13:14 kyali ki? (b) Kyali kitegeeza ki eky’omuzizo ‘okuyimirira awatasaana’?

12. Enjiri ya Lukka ekakasa etya nti Yesu ye yali omusika w’entebe ya Dawudi? (Luk. 3:23-38) [w92 10/1 lup. 9 kat. 3]

13. Makulu ki agaali mu bigambo bya Yesu ebiri mu Lukka 12:2?

14. Mu lugero lwa Yesu olwa lupiya eyabula, lwaki kyali kyewuunyisa bamalayika okweyisa bwe batyo? (Luk. 15:10) Ekyokulabirako kyabwe kyanditukutteko kitya?

15. Ndagaano ki ebbiri ezoogerwako mu Lukka 22:29 (NW)? [w89-E 2/1 lup. 19 kat. 19]

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza