Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Apuli ne Maayi: Gaba Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Bw’oddayo okukyalira abantu abaagala okumanya ebisingawo nga mwe muli n’abo abaaliwo ku Kijjukizo oba mu lukuŋŋaana olulala lwonna olw’ekibiina naye nga tebatera kujja mu nkuŋŋaana, bagabire akatabo akappya Sinza Katonda Omu Ow’Amazima. Musaanidde okufuba okufuna abayizi ba Baibuli, naddala singa abamu baamala dda okusoma akatabo Okumanya ne brocuwa Atwetaagisa. Jjuuni: Mugabe akatabo Okumanya oba brocuwa Atwetaagisa. Abantu bwe baba nga bino babirina, kozesa brocuwa endala etuukirawo eri mu kibiina. Jjulaayi ne Agusito: Emu ku brocuwa zino eziddirira ey’empapula 32 eyinza okukozesebwa: Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Emyoyo Egitalabika, Emyoyo gy’Abafu, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda ku Nsi, “Look! I Am Making All Things New,” Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Kiki Ekibaawo Bwe Tufa?, Ozudde Ekkubo Erituuka mu Bulamu Obutaggwaawo?, Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, What Is the Purpose of Life—How Can You Find It?, ne When Someone You Love Dies.
◼ Okutandika ne Jjuuni, bubaagi bw’olukuŋŋaana lwa disitulikiti olwa 2003 bujja kuweerezebwa wamu n’ebitabo. Tekijja kwetaagisa kubulagiriza. Okusinziira ku bantu abali mu kibiina, bubaagi bujja kuweerezebwa mu buganda nga buli kaganda kalimu bubaagi 25. Bwe kiba nti ekibiina kyetaaga bubaagi obulala, obwo bulina okusabibwa ku foomu Literature Request Form (S-14). Obuntu obwa pulasitiki omuteekebwa bubaagi bwandiragiriziddwa buweebwe yenna abwetaaga mu kibiina.
◼ Kyetaagisa ettabi lya ofiisi okubeera n’ebiwandiiko ebituufu eby’endagiriro n’ennamba z’essimu ez’abakadde abakubiriza akakiiko k’abakadde n’ez’abawandiisi. Bwe wabaawo enkyukakyuka yonna mu ndagiriro, Akakiiko k’Obuweereza ak’Ekibiina kandijuzizzaamu foomu eyitibwa Presiding Overseer/Secretary Change of Address (S-29), ne kagissaako emikono era ne kagiweereza eri ofiisi y’ettabi amangu ddala. Kino kitwaliramu enkyukakyuka mu ndagiriro n’ennamba y’essimu mu kitundu ekyo.
◼ Abawandiisi b’ekibiina basaanidde okubeera ne foomu ezimala Okusabirwa Okukola nga Payoniya owa Bulijjo (S-205), n’ezo Okusabirwa Okukola nga Payoniya Omuwagizi (S-205b). Zino ziyinza okusabibwa ku Foomu Okusabirwa Ebitabo (S-14). Beera n’ezinaamala omwaka gwonna. Weekenneenye foomu okusabirwa okukola nga payoniya owa bulijjo okukakasa nti zijjuziddwamu bulungi. Bwe kiba nti abasabye okukola nga bapayoniya tebajjukira lunaku lwa mwezi lwe baabatizibwako, bandiruteeberezza era ne baluteeka mu buwandiike.
◼ Buli lw’okola enteekateeka ez’okutambulako nga zirimu okubeera mu nkuŋŋaana z’ekibiina, mu lukuaana lw’ekitundu, oba olwa disitulikiti mu nsi endala, okusaba kwo okw’okutegeezebwa ebikwata ku nnaku z’omwezi, ebiseera, n’ekifo awanaabeera enkuŋŋaana kuteekwa okuweerezebwa ku ofiisi y’ettabi erabirira omulimu mu nsi eyo. Endagiriro z’amatabi ga ofiisi ziri ku lupapula olusembayo mu katabo Yearbook akaakafulumizibwa oba ku kitabo kya Sosayate kyonna ekyakafulumizibwa.
◼ Kaweefube waffe owa buli mwaka ow’okukola mu bitundu ebyesudde ewala ajja kutandika nga 1, Jjulaayi okutuuka nga 30 Ssebutemba, 2003. Ebibiina oba ekibinja ky’ababuulizi abaagala okukola mu bitundu ebyesudde bayinza okuwandiikira ofiisi nga Maayi 20, 2003 terunnayita. Ebibiina ebitatera kumalako kitundu kye bibuuliramu bisaanidde okukola enteekateeka okubibuuliramu mu kiseera kino. Tekyetaagisa kuwaayo kusaba kwo ku ofiisi ng’oyagala okukola nga payoniya ow’enjawulo okumala akaseera akatono mu kiseera kino kubanga omuwendo omugereke gwokka gwe gukkirizibwa okuva mu abo omulabirizi w’ekitundu b’aba asembye okukola omulimu guno. Bw’oba nga wandyagadde okukola nga payoniya ow’enjawulo okumala akaseera akatono, osabibwa okutegeeza omulabirizi w’ekitundu okuyitira mu Kakiiko k’Abakadde ak’Ekibiina kyo.