Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Apuli 14
Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Ng’okozesa amagezi agali ku lupapula 10, lagayo ebyokulabirako bibiri ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Maaki 15 ne Awake! aka Maaki 22. Mu buli kyakulabirako, magazini zombi zirina okugabibwa wadde ng’emu yokka y’erina okwogerwako.
Ddak. 10: Akasanduuko k’Ebibuuzo. Kwogera kw’omukadde.
Ddak. 20: “‘Okwakayakana ng’Ettabaaza.’”a Fundikira n’okwogera kwa ddakiika ttaano nga kwesigamiziddwa ku Watchtower aka Jjuuni 1, 1997, empapula 14-15, obutundu 8-13. Ggumiza ensonga lwaki tetwandireseeyo kubuulira bantu balala bubaka bw’Obwakabaka.
Oluyimba 30 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Apuli 21
Oluyimba 84
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira.
Ddak. 15: Mwogere ku Katabo Sinza Katonda. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Nnyonnyola enteekateeka ey’okukozesa akatabo akappya ng’akatabo ak’okubiri ak’okuyigirizaamu abantu Baibuli. (km 6/00 lup. 4 but. 5-6) Saba abawuliriza boogere ku bintu ebiri mu katabo bye basinga okunyumirwa. Bategeeze nti ebitundu ebimu eby’ekitabo bikozesa ebibuuzo n’Ebyawandiikibwa okuleetera omuyizi okufumiitiriza ennyo ku Kigambo kya Katonda. Yogera ku biri ku mpapula 47-9, akatundu 13.
Ddak. 20: “‘Mukisiime.’”b Buuza ebibuuzo ow’oluganda omu oba babiri abakozesa obulungi obwannamunigina bwabwe okusobola okutumbula eby’Obwakabaka. Basabe boogere ku ebyo ebibayamba okubeera abamativu mu buweereza bwabwe.
Oluyimba 35 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Apuli 28
Oluyimba 37
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Apuli. Ng’okozesa amagezi agali ku lupapula 10, lagayo ebyokulabirako bibiri ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Apuli 1 ne Awake! aka Apuli 8.
Ddak. 15: “Kozesa Akatabo Sinza Katonda Okuyigiriza Abantu Baibuli.” Kya kukubirizibwa Omulabirizi w’Obuweereza.
Ddak. 20: “Okuddiŋŋana Kuviirako Okufuna Abayizi ba Baibuli.”c Kya kukubirizibwa omukadde ng’akozesa ebibuuzo ebiweereddwa. Saba abawuliriza boogere ku byokulabirako ebiva mu buweereza bw’ennimiro ebiwagira ensonga ezoogerwako. Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 5, laga ekyokulabirako ekiraga ekyaliwo ddala ng’omubuulizi atandika okuyigiriza omuntu Baibuli mu kitundu kye mubuuliramu.
Oluyimba 41 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Maayi 5
Oluyimba 90
Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase. Mu kaseera katono, yogera ku magezi agaaweebwa mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Apuli 2002, olupapula 2 mu kitundu “Okweteekerateekera Oluwummula.”
Ddak. 15: “Yamba Abalala Okuzuula Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo.” Okukubaganya ebirowoozo nga mukozesa okubuuza ebibuuzo n’okuddamu. Ggumiza engeri brocuwa gy’eyogera ku nzikkiriza abantu ze batera okuba nazo. Nga mumaze okukubaganya ebirowoozo ku katundu 4, lagayo ekyokulabirako ekitegekeddwa obulungi nga kiraga engeri y’okuddamu ekibuuzo: “Katonda Asiima Amadiini Gonna?” (ol emp. 19-21) Kubiriza bonna okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro wiiki eno.
Ddak. 15: Lipoota Ennungi Ereeta Essanyu. (Nge. 15:30) Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga mwogera ku ebyo ekibiina bye kyakola olw’okwenyigira mu kaweefube ow’enjawulo mu Maaki ne Apuli. Saba ekibiina kyogere ku bintu ebizzaamu amaanyi ebyabatuukako nga bikwata ku bino ebiddirira: (1) okuyamba omuntu ayagala amazima okujja ku Kijjukizo, (2) okuweereza nga payoniya omuwagizi, (3) okukubiriza omubuulizi eyali takyabuulira okuddamu okubuulira awamu n’ekibiina, (4) okuyamba omuppya okutandika okubuulira, ne (5) okweyongera okuyamba abo abajja ku Kijjukizo. Tegeeza abamu ku boonoobuuza nga bukyali. Bonna beebaze era bakubirize okweyongera okufuba mu ngeri eyo mu biseera eby’omu maaso.
Oluyimba 11 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.