Baliko Obulema—Kyokka Babala Ebibala
1 Bw’oba ng’oli omu ku Bajulirwa ba Yakuwa abangi abaliko obulema, okyasobola okuweereza mu ngeri evaamu ebibala. Mu butuufu, embeera yo eyinza okukusobozesa okufuna emikisa egy’enjawulo okuwa obujulirwa n’okuzzaamu abalala amaanyi.
2 Okuwa Obujulirwa: Bangi abaliko obulema beenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’obuweereza. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe eyafuna obuzibu mu kutambula ne mu kwogera oluvannyuma lw’okulongoosebwa, yakisanga nti ayinza okugaba magazini ng’omwami we asimbye emmotoka ku mabbali g’oluguudo oluyisa abantu abangi. Lumu yagaba magazini 80 mu ssaawa bbiri zokka! Embeera yo ey’enjawulo eyinza okukusobozesa okutuukirira abantu abazibu okutuukirira. Bwe kiba bwe kityo, batunuulire ng’ekitundu kyo eky’enjawulo eky’okubuuliramu.
3 Okubuulira kwo kusobola okuba okw’omuganyulo! Abalala bwe balaba obumalirivu bw’olina era n’enkyukakyuka amazima gye gakoze mu bulamu bwo, bajja kusikirizibwa eri obubaka bw’Obwakabaka. Ate era, singa osanga abantu abalina obunafu mu mubiri, olw’okuba naawe oli mu mbeera y’emu, kijja kukwanguyira okubabudaabuda ng’okozesa Ekigambo kya Katonda.—2 Kol. 1:4.
4 Zaamu Abalala Amaanyi: Tewazibwamu amaanyi okusoma ku kyokulabirako kya Laurel Nisbet eyamala emyaka 37 ng’asizza mu kyuma kyokka n’ayamba abantu 17 okufuna okumanya okutuufu okwa Baibuli? Mu ngeri y’emu, ekyokulabirako kyo kisobola okuleetera Bakristaayo banno okufuba ennyo mu mulimu gwa Yakuwa.—g93 1/22 emp. 18-21.
5 Okyasobola okuzzaamu abalala amaanyi wadde ng’embeera zo tezikusobozesa kuba mu nnimiro nga bwe wandyagadde. Ow’oluganda omu yagamba: “Njize nti n’abo abaliko obulema obw’amaanyi basobolera ddala okuyamba abalala. Nze ne mukyala wange tunywezezza abantu bangi mu kibiina. Olw’embeera yaffe, tubaawo buli kiseera era tuli beetegefu okuyamba.” Kyokka, bw’oba oliko obulema, kitegeerekeka bulungi nti oyinza obutasobola kuba munyiikivu nga bwe wali. Wadde kiri bwe kityo, singa obeera oyambiddwako osobola okuba omunyiikivu mu buweereza. N’olwekyo, singa weetaaga obuyambi, tolonzalonza kubuulirako abakadde oba abalala mu kibiina abasobola okukuyamba.
6 Yakuwa alaba buli ky’okola ng’omuweereza, era asiima obuweereza bwo. (Zab. 139:1-4) Singa omwesiga, ajja kukuwa amaanyi osobole okuba n’obuweereza obuvaamu ebibala era obw’amakulu.—2 Kol. 12:7-10.