LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 11/03 lup. 2
  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Subheadings
  • Wiiki Etandika Noovemba 10
  • Wiiki Etandika Noovemba 17
  • Wiiki Etandika Noovemba 24
  • Wiiki Etandika Ddesemba 1
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
km 11/03 lup. 2

Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Wiiki Etandika Noovemba 10

Oluyimba 94

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Lagayo ebyokulabirako bibiri ebikwata ku ngeri y’okukozesaamu ebirowoozo ebiri ku lupapula 4 mu kugaba Watchtower aka Okitobba 15, ne Awake! aka Okitobba 22. Mu buli kyakulabirako, magazini zombi zirina okugabibwa wadde ng’emu yokka y’erina okwogerwako. Mu kimu ku byokulabirako omubuulizi annyonnyola engeri omulimu gwaffe ogw’ensi yonna gye guwagirwamu mu by’ensimbi era nnyinimu abeeko ky’awaayo mu kiseera ekyo kyennyini.​—Laba Watchtower, lup. 2, oba Awake! lup. 5.

Ddak. 15: “Mweteeketeeke.”a Saba abawuliriza boogere ekibayamba obuteeraliikirira oba obutawugulwa bintu ebiri mu nteekateeka y’ebintu eno ne boonoona ebiseera bye bandikozesezza ku bintu eby’eby’omwoyo.

Ddak. 20: Olonda Otya Mikwano Gyo? Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku katabo Sinza Katonda, empapula 47-9. Ng’okozesa ebibuuzo n’ebyawandiikibwa ebiri mu katundu 13, saba abawuliriza boogere ku misingi gya Baibuli gye twandigoberedde nga tulonda mikwano gyaffe.

Oluyimba 51 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Noovemba 17

Oluyimba 13

Ddak. 12: Ebirango by’ekibiina. Buuza ebibuuzo ababuulizi babiri oba basatu abafunye ebibala ebirungi mu buweereza bw’ennimiro nga bakozesa ebitabo bye tulina okugaba mu mwezi guno. Abamu bayinza okuba basobodde okufuna abayizi ba Baibuli.

Ddak. 15: Kulaakulanya Omwoyo ogw’Okugaba. Kwogera kw’omukadde nga kwesigamiziddwa ku Watchtower aka Noovemba 1, 2003, empapula 27-30. Bwe muba nga temugirina, kozesa Watchtower aka Noovemba 1, 2002, empapula 26-30.

Ddak. 18: “Okusiimibwa Kuzzaamu Amaanyi.”b Yogera ne ku ebyo ebiri mu katabo Essanyu mu Maka, empapula 49-50, akatundu 21. Saba abo abazzibwamu amaanyi olw’okusiimibwa abalala babeeko bye boogera.

Oluyimba 28 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Noovemba 24

Oluyimba 95

Ddak. 12: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira. Lagayo ebyokulabirako bibiri eby’enjawulo ku ngeri y’okukozesaamu ebirowoozo ebiri ku lupapula 4 mu kugaba Watchtower aka Noovemba 1 ne Awake! aka Noovemba 8. Ekyawandiikibwa ekirala ekitali ekyo ekiri ku lupapula 4, kiyinza okukozesebwa. Mu buli kyakulabirako, magazini zombi zirina okugabibwa wadde ng’emu yokka y’erina okwogerwako. Mu kimu ku byokulabirako, laga nga magazini zigabibwa embagirawo mu ntambula eya lukale oba mu ngeri endala yonna. Omubuulizi annyonnyola engeri omulimu gwaffe ogw’ensi yonna gye guwagirwamu mu by’ensimbi era nnyinimu agamba nti musanyufu okubaako ky’awaayo.

Ddak. 10: Akasanduuko k’Ebibuuzo. Kwogera kw’omukadde.

Ddak. 23: “Okukola Omukwano ogw’Oku Lusegere ne Yakuwa.”c Kozesa ebibuuzo ebiweereddwa. Saba abawuliriza boogere ku ngeri ebyawandiikibwa gye biyinza okukozesebwamu. Kola enteekateeka nga bukyali omubuulizi omu oba babiri boogere ku kibayambye okulongoosaamu mu ngeri gye bayigamu Baibuli.

Oluyimba 60 n’okusaba okufundikira

Wiiki Etandika Ddesemba 1

Oluyimba 58

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza bw’ennimiro eza Noovemba. Yogera ku bitabo eby’okugaba mu Ddesemba. Mu bufunze yogera ku nnyanjula emu oba bbiri eziweereddwa. Bategeeze engeri ababuulizi gye bayinza okukozesaamu Watch Tower Publications Index okufuna ennyanjula endala.​—Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ssebutemba 2001, lup. 2.

Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.

Ddak. 20: Tulina Ebisaanyizo by’Okuyigiriza Abalala. Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku Watchtower aka Jjuuni 1, 2000, empapula 16-17, obutundu 9-13. Ekiruubirirwa ekikulu mu buweereza bwaffe kwe kuyigiriza obulungi abantu. Obuwanguzi bwe tutuukako mu kuyamba abalinga endiga bwesigama nnyo ku kubayigiriza mu ngeri ebakubiriza okubaako ne kye bakolawo. Mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino ebiddirira: (1) Njawulo ki eriwo wakati w’okubuulira n’okuyigiriza? (it-2 lup. 672 kat. 2) (2) Lwaki abamu balonzalonza okugezaako okufuna be bayigiriza Baibuli? (3) Tusobola tutya okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu? (4) Tusobola tutya okukakasa nti omuyizi waffe ategeera bulungi by’ayiga? (5) Kiruubirirwa ki kye twandiyambye omuyizi waffe okutuukako?

Oluyimba 32 n’okusaba okufundikira.

[Obugambo obuli wansi]

a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.

b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.

c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share