Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Ddesemba 8
Oluyimba 99
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8, laga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Noovemba 15 ne Awake! aka Noovemba 22. Mu buli kyakulabirako magazini zombi zirina okugabibwa wadde ng’emu yokka y’erina okwogerwako.
Ddak. 20: “Obumu mu Bakristaayo ab’Amazima—Busoboka Butya?”a Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 5, saba abawuliriza boogere ku bintu ebiraga obumu bwaffe obw’Ekikristaayo ebyaliwo nga bali mu nkuŋŋaana ennene, nga bazimba ebizimbe ebikozesebwa mu mirimu gya teyokulase oba nga bayamba abo abatuukiddwako obutyabaga.
Ddak. 15: “Essomero ly’Omulimu gwa Katonda mu 2004.” Kwogera kw’omulabirizi akubiriza essomero. Yogera ne ku ebyo ebiri ku lupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Okitobba 2003.
Oluyimba 86 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Ddesemba 15
Oluyimba 9
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Kubiriza buli omu okusoma ebiri mu Kasanduuko k’Ebibuuzo akali mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ssebutemba 1999 akalina omutwe “Weetegekedde Embeera Eyeetaagisa Obujjanjabi obw’Amangu?” era abo abalina vidiyo Transfusion-Alternative Health Care—Meeting Patient Needs and Rights, basaanidde okugiraba nga beetegekera okukubaganya ebirowoozo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza mu wiiki etandika Ddesemba 29. Mukubaganye ebirowoozo ku kasanduuko akalina omutwe “Mubakyalire mu Bwangu.” Balage foomu eyitibwa S-70 bw’eba nga weeri. Yogera ku nteekateeka ey’enjawulo ey’obuweereza bw’ennimiro enaabaawo nga Ddesemba 25 ne Jjanwali 1.
Ddak. 15: Okweyigiriza—Kikolwa kya Kusinza. Kwogera okwesigamiziddwa ku Watchtower aka Okitobba 1, 2000, empapula 14-15, obutundu 6-10.
Ddak. 20: “Yamba Abo ‘Abaagala.’”b Kozesa ebibuuzo ebiweereddwa. Yogera ku lukalala lw’ebirowoozo ebiyamba mu kuddiŋŋana ebiri mu kasanduuko ku lupapula 3 mu Our Kingdom Ministry aka Maaki 1997.
Oluyimba 18 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Ddesemba 22
Ddak. 12: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8, lagayo ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Ddesemba 1 ne Awake! aka Ddesemba 8. Bonna bajjukize Olukuŋŋaana lw’Obuweereza olw’enjawulo olunaabaawo wiiki ejja, mwe tujja okukubaganyiza ebirowoozo ku vidiyo Patient Needs and Rights eri abo abazirina. Mugabe era mukubaganye ebirowoozo ku Ekiwandiiko ky’Enzijanjaba Ekiwa Obulagirizi era Ekiggyako Obuvunaanyizibwa.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina. Amawulire ga Teyokulase.
Ddak. 18: “Okunoonya Abo Abasaanira.”c Tuukanya bye mwogera n’ekitundu kyammwe. Ddi abantu b’omu kitundu lwe babeera awaka? Biki ebivuddemu olw’okubuulira mu biseera eby’olweggulo oba akawungeezi? Nkola ki eziyinza okukozesebwa okusobola okufuna abantu abatatera kubeera waka?
Oluyimba 92 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Ddesemba 29
Oluyimba 88
Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi bonna okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza bw’ennimiro eza Ddesemba. Yogera ku bitabo eby’okugaba mu mwezi gwa Jjanwali.
Ddak. 17: Mukubaganye ebirowoozo ku Kasanduuko k’Ebibuuzo akali mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ssebutemba 1999, akalina omutwe, “Weetegekedde Embeera Eyeetaagisa Obujjanjabi obw’Amangu?” oba vidiyo gye ziri, mukubaganye ebirowoozo ku kitundu “Vidiyo Eraga Enzijanjaba Enkulu Egobererwa mu by’Ekisawo.” Kya kukubirizibwa omukadde asobola okukubiriza obulungi ekitundu ekyo. Soma Ebikolwa by’Abatume 15:28, 29, era mu bufunze kiggumize nti ensonga esinga obukulu lwaki Abakristaayo bagaana okuteekebwamu omusaayi, kwe kuba nti baagala okussa ekitiibwa mu tteeka lya Katonda erikwata ku butukuvu bw’omusaayi. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku vidiyo Patient Needs and Rights nga mukozesa ebibuuzo ebiweereddwa mu kitundu. Fundikira ng’osoma akatundu akasembayo.
Ddak. 23: Okwaŋŋanga Ebizibu by’Obujjanjabi n’Obuvumu. Kwogera kw’omukadde anaawa obulungi emboozi eyo ng’akozesa ekiwandiiko ekiweerezeddwa okuva ku ttabi. Yogera ku nsonga enkulu eziri mu kasanduuko akalina omutwe, “Ebituweereddwa Okutuyamba Okwewala Omusaayi.”
Oluyimba 58 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Jjanwali 5
Oluyimba 75
Eky’Okwetegerezebwa: Ebibiina tebirina kuba na Lukuŋŋaana lwabyo olw’Obuweereza olwa wiiki etandika Jjanwali 5 nga wiiki eyo tennatuuka okuggyako ng’omulabirizi w’ekitundu ajja kubakyalira. Mu buli kibiina, olupapula olw’omunda olukwata ku lukuŋŋaana olunene lulina okukubaganyizibwako ebirowoozo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza okuggyako nga wajja kubaawo olukuŋŋaana lw’ekitundu mu wiiki eyo.
Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina.
Ddak. 15: Okufuba Kwammwe Si kwa Bwereere. (1 Kol. 15:58) Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Kola enteekateeka nga bukyali ababuulizi abamaze emyaka mingi nga babuulira n’obunyiikivu boogere ku ngeri omulimu gw’okubuulira gye gwalimu mu biseera eby’edda. Bameka abaali mu kibiina? Ekitundu kyenkana wa obunene ekibiina kye kyaweebwa okukolamu? Abantu baatwala batya obubaka bw’Obwakabaka? Kuziyizibwa kwa ngeri ki kwe wayolekagana nakwo? Omulimu gw’Obwakabaka gukulaakulanye gutya mu kitundu emyaka bwe gize giyitawo?
Ddak. 25: “Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olw’Abajulirwa ba Yakuwa Olwa ‘Tambula ne Katonda’ mu 2004.” Kya kukubirizibwa omuwandiisi w’ekibiina. Oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo ku katundu 1, soma ebbaluwa ekwata ku lukuŋŋaana olunene eya Ddesemba 15, 2003. Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, saba abawuliriza basome ensonga zonna eziri mu kasanduuko ku lupapula 4. Bonna bakubirize okukola enteekateeka ez’okubeerawo mu lukuŋŋaana olunene amangu ddala nga bwe kisoboka.
Oluyimba 98 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.