Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Noovemba 8
Oluyimba 80
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebirala okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Kaweefube ow’okugaba brocuwa Beera Bulindaala! ajja kukomekkerezebwa nga Noovemba 14. Ennaku eziriba zisigaddeyo mu Noovemba, tujja kugaba ekitabo Learn From the Great Teacher. Yogerako katono ku ngeri y’okukigabamu eri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Maayi 2004, olupapula 3.
Ddak. 15: Ganyulwa mu Bujjuvu mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza. Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku kitabo Our Ministry empapula 71-2. Ngeri ki ettaano Olukuŋŋaana lw’Obuweereza mwe lutuyambira okulongoosa mu buweereza bwaffe ng’Abakristaayo? Waayo ebyokulabirako ku nsonga eyo okuva mu programu y’omwezi guno. Miganyulo ki egiri mu kutegeka nga bukyali? Lwaki kikulu okubeerawo obutayosa? Olukuŋŋaana luno lwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa ki?
Ddak. 20: “Buulira n’Obunyiikivu!”a Yogera ne ku ebyo ebiri mu Watchtower aka Jjanwali 15, 2000, empapula 12-13.
Oluyimba 7 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Noovemba 15
Oluyimba 33
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Kozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 4 bwe biba bituukirawo mu kitundu kyammwe, okulaga engeri y’okugabamu Watchtower aka Okitobba 15 ne Awake! aka Okitobba 22. Ebyokulabirako ebirala ebituukirawo biyinza okukozesebwa.
Ddak. 15: Omanyi Essanyu Eriva mu Kugaba? Emboozi eyeesigamiziddwa ku Watchtower aka Noovemba 1, 2004, empapula 19-23. Watchtower eno bw’eba nga teriiwo, emboozi gyesigamye ku Watchtower aka Noovemba 1, 2003, empapula 26-30.
Ddak. 20: Kozesa Brocuwa Empya Okuyamba Abalala Okukulaakulana. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Tulina okuddayo eri abo be twawa brocuwa Beera Bulindaala! tubayambe okukulaakulana. Ng’okozesa olukalala olulaga ebirimu ku lupapula 2, yogera mu bufunze ku ebyo ebiri mu brocuwa, era bategeeze ne ku ebyo ebiri mu bubokisi. Ebiri mu bubokisi obwo bisobola okukozesebwa okukubaganya ebirowoozo mu kuddiŋŋana. Ng’ekyokulabirako, bwe muba nga mwekenneenya olupapula 3-4 ku mulundi ogwasooka, akabokisi akagamba nti “Ddala Katonda Afaayo?” akali ku lupapula 5 kayinza okukozesebwa mu kuddiŋŋana. Mukubaganye ebirowoozo ku ngeri y’okukikolamu. Yogera ku bubokisi obulala, gamba ng’obwo obuli ku mpapula 6-8 ne 17-18 oba obulala bwonna obutuukirawo mu kitundu kyammwe. Kozesa akamu ku bubokisi okulaga ekyokulabirako ekikwata ku kuddayo eri oyo eyalaga okusiima. Soma era okubaganye ebirowoozo ku kyawandiikibwa kimu oba n’okusingawo ku ebyo ebiweereddwa. Omubuulizi akomekkereza ng’ayogera ku kabokisi akalala akajja okukubaganyizibwako ebirowoozo ku lukyala olunaddako.
Oluyimba 90 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Noovemba 22
Oluyimba 67
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Alipoota y’eby’embalirira.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase.
Ddak. 20: Okutandika Okuyigiriza Baibuli Abo Abaasigaza Brocuwa Empya. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwa kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Mu bufunze yogera ku kyokulabirako ekyalagibwa mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza oluwedde, ekyali kikwata ku kuddiŋŋana, era yogera ne ku kabokisi akaayogerwako ku nkomerero y’olukyala olwo. Weeyambise ababuulizi be bamu (bwe kiba kisoboka) bakozese akabokisi ako okulaga okuddiŋŋana okuddako. Oluvannyuma omubuulizi akozesa olupapula olusembayo olwa brocuwa okutegeeza omuyizi ku nteekateeka ey’okumuyigiriza Baibuli, era bakola enteekateeka okusoma essomo 1 mu brocuwa Atwetaagisa ku lukyala olunaddako. Kubiriza bonna okufuba okutandika okuyigiriza Baibuli abo be baalekera brocuwa Beera Bulindaala!
Oluyimba 28 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Noovemba 29
Oluyimba 43
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Noovemba. Laga ebyokulabirako ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Noovemba 1 ne Awake! aka Noovemba 8.
Ddak. 10: Akasanduuko k’Ebibuuzo. Kwogera kw’omukadde.
Ddak. 25: “Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana—Ekitundu 3.”b Kozesa ebibuuzo ebiweereddwa. Oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, lagayo ekyokulabirako ng’omuyizi ayigirizibwa mu brocuwa Atwetaagisa, essomo 5, akatundu 1. Mukitwale nti akatundu kawedde okusomebwa era n’ekibuuzo kiddiddwamu. Ayigiriza awamu n’omuyizi basoma era ne bakubaganya ebirowoozo ku Isaaya 45:18 ne Omubuulizi 1:4. Ayigiriza akozesa ebibuuzo ebyangu okusobozesa omuyizi okunnyonnyola engeri buli kyawandiikibwa gye kikwataganamu n’ensonga eyogerwako.
Oluyimba 13 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Ddesemba 6
Oluyimba 52
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Bategeeze ebitabo ebinaagabibwa mu Ddesemba. Laga ekyokulabirako kimu oba bibiri ebiyinza okukozesebwa okugaba ekitabo Greatest Man.
Ddak. 20: “Osobola Okuyamba Abalala?”c Buuza ebibuuzo omubuulizi omu oba babiri abaasiima obuyambi abalala bwe babawa.
Ddak. 15: Ebyokulabirako eby’omu kitundu. Saba abakuwuliriza boogere ku byaliwo ebisanyusa bwe baddayo eri abo be baagabira brocuwa Beera Bulindaala! Teekateeka nga bukyali okulaga ebyokulabirako eby’ebintu ebyaliwo ddala. Bonna beebaze olw’okwenyigira mu kaweefube ow’enjawulo.
Oluyimba 91 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.