LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 7/05 lup. 8
  • Okubuulira Abantu Bangi nga Bwe Kisoboka

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okubuulira Abantu Bangi nga Bwe Kisoboka
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Similar Material
  • ‘Kola Ebintu Byonna olw’Amawulire Amalungi’
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Engeri ez’Enjawulo ez’Okubuuliramu Amawulire Amalungi
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Yakuwa Atuwa Obulagirizi nga Tukola Omulimu gw’Okubuulira
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Okuwa ‘Obujulirwa mu Mawanga Gonna’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 7/05 lup. 8

Okubuulira Abantu Bangi nga Bwe Kisoboka

1. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baakola ki okusobola okubuulira amawulire amalungi abantu bangi nga bwe kisoboka?

1 Abagoberezi ba Yesu abaasooka baanyiikira okubuulira obubaka bw’Obwakabaka. Baakozesa engeri ennungi okusobola okubuulira abantu bangi nga bwe kisoboka. Abakristaayo abaawandiika Baibuli, baakozesa Oluyonaani olwa bulijjo, olulimi olwakozesebwanga ennyo mu Bwakabaka bwa Rooma. Ate era, ababuulizi abanyiikivu ab’omu kyasa eky’okubiri n’eky’okusatu C.E. bayinza okuba nga be baawoma omutwe mu kukozesa codex, eyali ennyangu okukozesa okusinga emizingo mu kunoonya ebyawandiikibwa.

2, 3. (a) Isaaya 60:16 lutuukiriziddwa lutya mu kiseera kino? (b) Tekinologiya akozeseddwa atya mu kutumbula okusinza okulongoofu?

2 Okukozesa Tekinologiya: Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Yakuwa yalagula bw’ati: “N’okuyonka oliyonka amata g’amawanga.” (Is. 60:16) Mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi buno mu kiseera kino, abaweereza ba Yakuwa beeyambisa eby’obugagga eby’omu nsi okutumbula omulimu gw’okubuulira. Ng’ekyokulabirako, mu 1914, nga okulaga ebifaananyi eby’oku ntimbe tekunnacaaka nnyo, Abayizi ba Baibuli baatandika okulaga ebifaananyi eby’oku ntimbe ebyayitibwanga “Photo Drama of Creation.” Ebifaananyi bino ebyali mu langi, era ebyamalanga essaawa munaana nga biragibwa, byawa obujulirwa obw’amaanyi eri obukadde n’obukadde bw’abantu.

3 Leero, abantu ba Katonda bakozesa kompyuta n’ebyuma ebikuba ebitabo ku sipiidi eya waggulu ennyo, okukuba Baibuli awamu n’ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli mu nnimi bikumi na bikumi. Bakozesa engeri ennungi ez’entambula ezisobozesa okutuusa amangu ebitabo mu bitundu by’ensi ebyesudde, abantu abali mu nsi 235 ne basobola okutuusibwako amawulire amalungi. Okuyitira mu mwoyo gwe, Yakuwa asobozesezza abaweereza be okukozesa obulungi tekinologiya ng’oyo, abantu bangi ne basobola okubuulirwa okusinga bwe kyali kibadde mu byafaayo by’omuntu.

4. Nkyukakyuka ki abamu ze bakoze mu bulamu bwabwe okusobola okubuulira abantu bangi amawulire amalungi?

4 Enkyukakyuka Ezikoleddwa Abantu Kinnoomu: Ate era, abasinza ab’amazima bakoze enkyukakyuka mu bulamu bwabwe okusobola okubuulira abantu bangi amawulire amalungi. Bangi beerekerezza ebintu ebimu okusobola okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira mu bujjuvu. Abamu bagenze mu bitundu ebyesudde awali obwetaavu bw’ababuulizi b’Obwakabaka. Abalala bayize ennimi endala okusobola okugaziya ku buweereza bwabwe.

5, 6. Kiki ekiyinza okukolebwa okusobola okubuulira abantu bangi nga bwe kisoboka mu kitundu kyaffe?

5 Okugatta ku ekyo, tusobola okutuusa amawulire amalungi ku bantu bangi nga tubuulira mu biseera abantu we babeerera awaka era ne mu bifo abantu gye bayinza okusangibwa. Abantu b’omu kitundu kyammwe bwe baba nga tebatera kubeera waka mu biseera eby’emisana, oyinza okukola enteekateeka okubuulira mu biseera eby’akawungeezi? Waliwo ebifo ebya lukale w’oyinza okubuulira? Ogezezzaako okubuulira ng’okozesa essimu oba okuwa obujulirwa mu bifo omukolerwa bizineesi? Ofuba okubuulira embagirawo?

6 Nga tulina enkizo ya maanyi okuwa obujulirwa obukwata ku linnya lya Yakuwa n’Obwakabaka bwe! Ka tweyongere okubuulira abantu bangi nga bwe kisoboka amazima agawa obulamu agali mu Kigambo kya Katonda.​—Mat. 28:19, 20.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share