Okuzimbagana nga Tuli mu Buweereza
1 Ffenna tuddamu amaanyi bwe tufuna “ekigambo ekyogerwa mu kiseera ekituufu.” (Nge. 25:11, NW) Bwe tuba tukola n’abalala mu buweereza, tuyinza tutya okukakasa nti emboozi zaffe zibazimba?
2 Emboozi Ezizimba: Nga kizzaamu nnyo amaanyi bwe twogera ne ku bintu eby’omwoyo nga tuli mu buweereza bw’ennimiro! (Zab. 37:30) Tuyinza okwogera ku nnyanjula zaffe oba ku bintu ebizzaamu amaanyi bye twafuna mu buweereza bw’ennimiro gye buvuddeko awo. (Bik. 15:3) Waliwo ensonga ennungi gye twafunye nga tusoma Baibuli, nga tusoma magazini ezaakafuluma, oba nga tuli mu nkuŋŋaana z’ekibiina? Tuyinza okwogera ku ebyo ebyali mu kwogera kwa bonna okwaweebwa mu Kizimbe ky’Obwakabaka gye buvuddeko awo.
3 Tuyinza okuwulira nga tuweddemu amaanyi singa omuntu atubuuza ekibuuzo, kyokka ne tulemererwa okumunnyonnyola obulungi. Kyandibadde kirungi nnyo okukozesa eddakiika entonotono oluvannyuma lw’okwogera n’omuntu oyo, ne tukubaganya ebirowoozo n’oyo gwe tuba tubuulira naye ku ngeri y’okukwatamu ensonga ng’eyo ku mulundi omulala, oboolyawo nga tukozesa akatabo Reasoning. Era tusobola okuzzaamu amaanyi oyo gwe tubuulira naye singa tumwebaza mu bwesimbu olw’okubuulira obulungi.
4 Gwe Oba Osooka Okubaako ky’Okolawo: Waliwo abamu ku abo be tubeera nabo mu Lukuŋŋaana olw’Okusoma Ekitabo be tuludde okubuulirako nabo? Bwe tubasaba okubuulirako awamu naffe tusobola ‘okuzziŋŋanamu amaanyi.’ (Bar. 1:12, NW) Bapayoniya aba bulijjo ne bapayoniya abawagizi basiima nnyo bwe wabaawo ababuulizi ababuulirako awamu nabo, naddala mu biseera eby’oku makya ennyo oba eby’akawungeezi, we kibeerera ekizibu okufuna ab’okubuulira nabo. Tusobola okuwagira bapayoniya nga tubuulira wamu nabo. Waliwo omubuulizi alina obunafu mu mubiri nga tebumusobozesa kumala kiseera kiwanvu mu buweereza bw’ennimiro? Bwe tukola enteekateeka ne tubuulirako n’omuntu ng’oyo, oba n’atuwerekerako nga tugenda okuyigiriza omuyizi wa Baibuli, kiyinza okutusobozesa okuzziŋŋanamu amaanyi.—Nge. 27:17.
5 Bwe tusiima abalala ne mu bintu ebitono, kibazzaamu amaanyi. Kino tusaanidde okukijjukira nga tuli n’abalala mu buweereza bw’ennimiro, okuva bwe kiri nti twagala ‘okuzimbagananga.’—1 Bas. 5:11.