Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Maaki 10
Oluyimba 51
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ng’okozesa ennyanjula eziri ku lupapula 4 oba endala ezituukana n’ekitundu kyammwe, laga engeri y’okugabamu Watchtower eya Febwali 1 ne Awake! eya Febwali awamu n’akapapula akayita abantu okubaawo ku Kijjukizo.
Ddak. 20: Ensonga Lwaki Tusaanidde Okukuŋŋaana Awamu. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku Watchtower eya Maayi 15, 2007, olupapula 11-13. Saba abawuliriza boogere ku ngeri gye baganyuddwa mu kubeerangawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina era n’engeri gye bavvuunuseemu ebizibu basobole okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa.
Ddak. 15: “Tusobola Okubaako Kye Tuwa Yakuwa.”a Ebiseera bwe bibaawo, saba abawuliriza boogere ku byawandiikibwa ebiragiddwa.
Wiiki Etandika Maaki 17
Oluyimba 61
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza abawuliriza okujja ne Watchtower eya Maaki 1 ne Awake! eya Maaki mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olunaabaawo wiiki ejja era n’okweteekateeka okukubaganya ebirowoozo ku nnyanjula ezituukagana obulungi n’ekitundu kyammwe. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka.
Ddak. 15: Akasanduuko k’Ebibuuzo. Kyakukubirizibwa omukadde. Soma era mukubaganye ebirowoozo ku kitundu kyonna.
Ddak. 20: “Tuyinza Tutya Okuyamba Abo Abanaabaawo ku Kijjukizo?”b Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 5, mu bufunze, laga engeri gye tuyinza okutandika okuyigiriza Baibuli oyo eyaliwo ku Kijjukizo.
Oluyimba 96
Wiiki Etandika Maaki 24
Oluyimba 63
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Soma lipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka.
Ddak. 15: Weeteeketeeke Okugaba Magazini Empya. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza. Ng’omaze okwogera mu bufunze ku ebyo ebiri mu Watchtower eya Maaki 1 ne Awake! eya Maaki, saba abawuliriza banokoleyo ebimu ku bitundu ebizirimu ebiyinza okusikiriza abantu b’omu kitundu kyammwe, era bawe n’ensonga lwaki bagamba bwe batyo. Saba abawuliriza boogere ku nsonga zennyini eziri mu bitundu ebyo bye bateekateeka okukozesa nga bagaba magazini ezo. Kibuuzo ki ekiyinza okubuuzibwa okusobola okutandika okunyumya n’omuntu? Kyawandiikibwa ki ekiyinza okusomebwa okuva mu kitundu ekyo? Ng’okozesa ennyanjula eziweereddwa, laga engeri y’okugabamu Watchtower eya Maaki 1 ne Awake! eya Maaki.
Ddak. 20: Tutwala Amawulire ag’Ebigambo Ebirungi. Oluvannyuma lw’ennyanjula etaweza ddakiika, omukadde awa okwogera okwesigamiziddwa ku Omunaala gw’Omukuumi aka Jjulaayi 1, 2005, olupapula 24-25, akatundu 10-14. Saba abawuliriza boogere ku ngeri obubaka bw’Obwakabaka gye bwababudaabudamu era ne bubawa essuubi ku mulundi gwe basooka okubuwulira.
Oluyimba 11
Wiiki Etandika Maaki 31
Oluyimba 16
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Maaki.
Ddak. 20: Kozesa Bulungi akatabo 2008 Yearbook. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Mukubaganye ebirowoozo ku “Ebbaluwa Okuva ku Kakiiko akafuzi” eri ku lupapula 3-5. Saba ababuulizi babiri oba basatu boogere ku kyokulabirako ekyabazzaamu ennyo amaanyi okuva mu katabo Yearbook. Tegeka nga bukyali wabeewo omubuulizi omu oba babiri boogere ku ngeri gye bakolamu enteekateeka ey’okusoma akatabo Yearbook. Fundikira ng’okubiriza bonna okusoma akatabo ako konna. Akatabo 2008 Yearbook bwe kaba tekaliiwo, kozesa akatabo 2007 Yearbook era okubirize ab’oluganda okusoma akatabo 2008 Yearbook nga bamaze okukafuna.
Ddak. 15: “Okuzimbagana nga Tuli mu Buweereza.”c
Oluyimba 71
Wiiki Etandika Apuli 7
Oluyimba 90
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina.
Ddak. 20: Lwaki Olonzalonza Okubatizibwa? Kwogera kw’omukadde nga kwesigamiziddwa ku Omunaala gw’Omukuumi aka Jjulaayi 1, 2006, olupapula 31-32, akatundu 14-17. Mu bufunze buuza ebibuuzo omubuulizi omu oba babiri abaabatizibwa nga bakyali batiini. Kiki ekyabakubiriza okusalawo okubatizibwa nga bakyali bato? Okubatizibwa kwabayamba kutya okukulaakulana mu by’omwoyo, ekintu eky’obukuumi gye bali?
Ddak. 15: Ogezezzaako Okukozesa Ennyanjula Etuuka Obutereevu ku Nsonga? Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku lupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2002, olupapula 6. Mukubaganye ebirowoozo ku nnyanjula eziweereddwa ne ku ngeri gye ziyinza okukyusibwakyusibwamu okusobola okutandika okuyigiriza omuntu Baibuli nga tukozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Oluvannyuma lagayo ekyokulabirako kimu oba bibiri. Kubiriza abawuliriza bagezeeko okufuna gwe bayigiriza Baibuli mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza waakiri omulundi gumu mu wiiki ejja nga bakozesa ennyanjula etuuka obutereevu ku nsonga.
Oluyimba 55
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.