Ebbaluwa Okuva Eri Akakiiko Akafuzi
Bajulirwa Bannaffe Abaagalwa:
Nga kya ssanyu nnyo okubawandiikira ebbaluwa eno! Tulina enneewulira y’emu ng’ey’omutume Yokaana eyagamba nti yali ‘ayagala nnyo’ bakkiriza banne era nti yali musanyufu nnyo olw’okuba baali “batambulira mu mazima.” (2 Yok. 1, 4) Nga nkizo y’amaanyi nnyo okuba nti tuli mu mazima! Amazima gatusumuludde okuva mu Babulooni Ekinene awamu n’enjigiriza zaakyo nga mw’otwalidde n’obulombolombo obutaweesa Katonda kitiibwa. Okugoberera ekyo Baibuli ky’eyigiriza kituyambye okufuuka abantu ab’okwagala, ab’ekisa, era abasaasizi. Amazima era gatusobozesezza okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda era n’okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.
Era nga tuli basanyufu nnyo, olw’omwoyo gwa Yakuwa ogutuwa obulagirizi buli lunaku era ne gutuzzaamu amaanyi! Tuli bakakafu nti mwanyumirwa nnyo okwekenneenya engeri ez’enjawulo Yakuwa gy’akozesaamu omwoyo gwe guno bwe mwali mu Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwakaggwa olwalina omutwe “Abakulemberwa Omwoyo gwa Katonda.” Ng’embeera y’ensi eno egenda yeeyongera okwonooneka, kikulu nnyo okwesigama ku mwoyo gwa Yakuwa ogw’amaanyi okusobola okuyita mu biseera ebizibu ennyo ebiri mu maaso awo.
Tuli bakakafu nti mukwatibwako nnyo bwe musoma ebyo ebiba mu butabo obwa Yearbook ebikwata ku baganda baffe abaagumiikiriza ennyo nga bayigganyizibwa olw’okukkiriza kwabwe. Era kyewunyisa okukimanya nti bangi ku baganda baffe abo baali baakabatizibwa mu kiseera we baayolekaganira n’okuyigganyizibwa okwo era nga n’abamu baali tebannabatizibwa. Nga twagala nnyo baganda baffe abo olw’obwesigwa bwabwe n’olw’okunywerera ku butuukirivu! Mu butuufu, ekyokulabirako kyabwe kino ekirungi ennyo kituleetera okuba abamalirivu okweyongera okuba abeesigwa eri Obwakabaka ka kibe nti twolekaganye na kizibu ki.—1 Bas. 1:6-8.
Baganda baffe ne bannyinaffe abaagalwa, tukimanyi bulungi nti mulina ebizibu bingi eby’eby’enfuna awamu n’ebirala bye mwolekagana nabyo okusobola okukuuma amaka gammwe nga gali bumu mu kwagala. Abamu ku mmwe, mukisanga nga kizibu nnyo okubuulira era n’okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa. Eno ye nsonga lwaki oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo n’okusaba ennyo, tukoze enkyukakyuka mu nkuŋŋaana z’ekibiina okuva nga Jjanwali 1, 2009. Tusuubira nti enkukakyuka zino zijja kubasobozesa okuba n’ebiseera ebimala eby’okwesomesa era n’okusomera awamu ng’amaka.
Twali basanyufu nnyo olw’abantu abangi abaabatizibwa mu nkuŋŋaana ennene ezaaliwo omwaka oguwedde. Abamu ku abo baali bato mu myaka. Abazadde mwebazibwa nnyo olw’okukuza abaana bammwe nga baagala amazima era ne mubakubiriza okwewaayo eri Yakuwa bamuweereze nga bakyali bato. Olw’okuba abaana bano batuukirizza ebisaanyizo eby’okubatizibwa wadde nga boolekagana n’ebizibu bingi ku ssomero, kiraga nti batendekeddwa bulungi bazadde baabwe.—Zab. 128:1-6.
Ate era kye tutayinza kubuusa maaso kwe kweyongerayongera kw’abayizi ba Baibuli—era nga kino kivudde ku bunyiikivu bwa baganda baffe abaminsani awamu ne bapayoniya ab’enjawulo. Ffenna abali ku Kakiiko Akafuzi tusiima nnyo omulimu omukulu ogukolebwa ab’oluganda ogw’okuyita abantu abeesimbu nga bagamba nti “Jjangu,” era n’abo bonna abalina ennyonta ‘batwale amazzi ag’obulamu buwa.’ (Kub. 22:17) Twaniriza nnyo baganda baffe ne bannyinaffe 289,678 abaabatizibwa omwaka oguwedde era ne beeyunga ku luganda lwaffe olw’ensi yonna!
Kikulu nnyo okwejjukanya ebigambo by’omutume Yokaana eyagamba nti, “Ensi eggwaawo, n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.” (1 Yok. 2:17) Era nga kikulu nnyo okukimanya nti tuli mu kiseera ng’enteekateeka y’ebintu eno embi enneetera ‘okuggwawo’! Kya magezi okwemalira ku kukola Katonda by’ayagala era ‘n’okubeera obulindaala.’ (Mat. 24:42) Tetujja kwejjusa bwe tunaakola kino, era tujja kufuna emiganyulo mingi olw’ekisa kya Yakuwa.—Is. 63:7.
Tusuubira nti ebyo ebiri mu katabo kano aka Yearbook ebikwata ku baganda baffe okuva mu nsi nnyingi bijja kubazzaamu nnyo amaanyi era mweyongere okukulembeza eby’Obwakabaka mu bulamu bwammwe. Tubakakasa nti tubalowoozaako nnyo, tubasabira, era nti tubaagala nnyo. Yakuwa ka yeeyongere okubawa emikisa gye.
Ffe baganda bammwe,
Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa