Engeri y’Okukozesaamu Akatabo ‘Okwagala kwa Katonda’ Okuyigiriza Abantu Baibuli
1. Akatabo ‘Kwagala kwa Katonda’ kalina kigendererwa ki?
1 Nga twasanyuka nnyo bwe twafuna akatabo akapya ‘Mwekuumirenga mu Kwagala kwa Katonda’ mu Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwalina omutwe “Abakulemberwa Omwoyo gwa Katonda!” Nga bwe twategeezebwa, akatabo kano kategekeddwa okutuyamba okumanya emitindo gya Yakuwa egy’empisa era n’okugyagala, so si okukakozesa okuyigiriza abantu enjigiriza za Baibuli ezisookerwako. Tetujja kugaba katabo kano nga tubuulira nnyumba ku nnyumba.
2. Akatabo kano kanaakozesebwa katya, era baani be tunaayiga nabo Baibuli nga tukakozesa?
2 Kano ke katabo ak’okubiri ke tujja okuyigiririzaamu abayizi ba Baibuli nga bamazeeko akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Kijjukire nti abantu tebakulaakulanira ku kigero kye kimu mu by’omwoyo. Buli muyizi wa Baibuli asaanidde okuyigirizibwa okusinziira ku busobozi bwe. Kakasa nti ebyo by’omuyigiriza abitegeera bulungi. Okutwalira awamu, akatabo kano tetulina kukakozesa kutandika kuyigiririzaamu abantu Baibuli abaasomako edda ebitabo byaffe naye nga tebajja mu nkuŋŋaana z’ekibiina era nga tebaagala kutuukanya bulamu bwabwe n’amazima ge baayigirizibwa okuva mu Baibuli.
3. Kiki kye tusaanidde okukola bwe tuba nga tulina gwe tuyigiriza Baibuli nga tukozesa akatabo Sinza Katonda?
3 Bwe kiba nti mu kiseera kino olina gw’oyigiriza Baibuli ng’okozesa akatabo Sinza Katonda era nga muli mu ssuula ezisembayo, oyinza okusalawo ne mumalako akatabo ako era n’okubiriza omuyizi wo okusoma ku lulwe akatabo ‘Kwagala kwa Katonda.’ Ku luuyi olulala, kyandibadde kirungi n’omutwala mu katabo akapya era ne mutandikira ku ssuula esooka. Nga bwe tukola nga tuyigiriza abantu Baibuli mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza, oyinza okusalawo okukubaganya ebirowoozo n’omuyizi wo ku ebyo ebyongerezeddwako oba nedda.
4. Kiki kye tusaanidde okukola singa omuyizi abatizibwa nga tannamalako katabo Baibuli Ky’Eyigiriza oba ‘Kwagala kwa Katonda’?
4 Singa omuyizi wa Baibuli abatizibwa nga tannamalako obutabo obwo bwombi, musaanidde okweyongera okusoma okutuusa lwe mumalako n’akatabo akapya ‘Kwagala kwa Katonda.’ Ne bwe kiba nti omuyizi wa Baibuli amaze okubatizibwa, oyinza okweyongera okubala ebiseera, okuddiŋŋana, era n’omubala ng’omuyizi. Omubuulizi aba akuweereddeko okuyigiriza omuntu oyo naye ayinza okubala ebiseera.
5. Tuyinza tutya okukozesa akatabo ‘Kwagala kwa Katonda’ okuyamba abo abatakyabuulira?
5 Singa Akakiiko k’Obuweereza bw’Ekibiina kakusaba okusoma Baibuli n’omuntu atakyabuulira, oyinza okusabibwa okusoma naye essuula ezimu eziri mu katabo ‘Kwagala kwa Katonda.’ Tekikwetaagisa kumala bbanga ddene ng’osoma n’omuntu ng’oyo. Nga kya ssanyu nnyo okuba n’akatabo kano akapya akategekeddwa okutuyamba okusigala mu ‘kwagala kwa Katonda’!—Yuda 21.