Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 16
WIIKI ETANDIKA MAAKI 16
Oluyimba 45
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv-LU sul. 2 ¶12-21, n’akasanduuko akali lup. 24
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Olubereberye 43-46
Na. 1: Olubereberye 44:1-17
Na. 2: Obuyinza Yesu bw’Alina ku Badayimooni (lr sul. 10)
Na. 3: Obunnabbi bwa Baibuli Bwesigika Nnyo! (rs lup. 155 ¶2-5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Oluyimba 53
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Erinnya lya Yakuwa Lituyamba Okumutegeera. Okwogera okw’ebbugumu nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu olupapula 274, akatundu 2-5.
Ddak. 10: Kozesa Bulungi akatabo 2009 Yearbook. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Mukubaganye ebirowoozo ku “Ebbaluwa Okuva ku Kakiiko Akafuzi.” Tegekawo nga bukyali ababuulizi boogere mu bufunze ku ebyo bye basomye mu katabo Yearbook ebibazzizzaamu amaanyi. Saba abawuliriza boogere ku bintu ebizzaamu amaanyi ebiri mu alipoota y’ensi yonna. Fundikira ng’okubiriza bonna okusoma akatabo ako konna. Akatabo ako bwe muba temukalina, kozesa akatabo 2008 Yearbook era okubirize ab’oluganda okusoma akatabo 2009 Yearbook nga bakafunye.
Ddak. 10: “Engeri y’Okukozesaamu Akatabo ‘Okwagala kwa Katonda’ Okuyigiriza Abantu Baibuli.” By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
Oluyimba 15