Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maayi 18
WIIKI ETANDIKA MAAYI 18
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv-LU sul. 5 ¶1-6, n’akasanduuko akali ku lup. 52, 55
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Okuva 30-33
Na. 1: Okuva 31:1-18
Na. 2: Ensonga Lwaki Abakristaayo ab’Omu Kyasa Ekyasooka Baaweebwa Ebirabo eby’Okuwonya (rs lup. 159 ¶2–lup. 160 ¶2)
Na. 3: Weebaza Abalala? (lr sul. 18)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Oluyimba 14
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Erinnya lya Katonda—Kigo kya Maanyi. Kwogera okwesigamiziddwa ku ebyo ebiri mu kitabo Ssomero ly’Omulimu wansi w’omutwe omutono ogw’okubiri oguli ku lupapula 274.
Ddak. 10: Ebintu Bisatu Ebikusobozesa Okuba n’Ennyanjula Ennungi. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku katabo Reasoning, olupapula 9, akatundu 1. Nga mumaze okukubaganya ebirowoozo, laga engeri gye tuyinza okugabamu ebitabo ebinaakozesebwa mu mwezi gwa Jjuuni.
Ddak. 10: “Engeri y’Okweteekerateekera Olukuŋŋaana lw’Obuweereza.” Kukubaganya birowoozo ng’okozesa ebibuuzo.
Oluyimba 17