Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Okitobba 19
WIIKI ETANDIKA OKITOBBA 19
Oluyimba 39
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv sul. 11 ¶20-22, akasanduuko ku lup. 131
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Ekyamateeka 7-10
Na. 1: Ekyamateeka 9:1-14
Na. 2: Ensonga Lwaki Tusaanidde Okwagala Yesu (lr-E sul. 38)
Na. 3: Baibuli Eraga nti Bameka Abalina Essuubi ery’Okugenda mu Ggulu? (rs-E lup. 166 ¶3-4)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Oluyimba 39
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 15: Okunoonyereza Kuyamba Omuntu Okweyongera Okutegeera. Kwogera okwesigamiziddwa ku ebyo ebiri mu kitabo Ssomero ly’Omulimu olupapula 33 okutuuka ku mutwe omutono ku lupapula 34. By’oyogera bisaanidde okulaga engeri ababuulizi gye bayinza okuyambamu abayizi baabwe okuyiga okunoonyereza kibasobozese okuba n’okukkiriza okunywevu era n’okweteekerateekera obuweereza. Laga ekyokulabirako ekiraga engeri omubuulizi gy’ayinza okuyambamu omuyizi okutegeera omuganyulo oguli mu kunoonyereza.
Ddak. 15: “Okuwa Obujulirwa nga Tukozesa Essimu kya Muganyulo.” Kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo. Funa ababuulizi babiri buli omu alage ekyokulabirako ng’akozesa akatabo akagabibwa omwezi guno. Kubiriza buli mubuulizi okufuna ekitundu ekikye ku bubwe eky’okubuuliramu. Laba akatabo Organized olupapula 102, akatundu 3 okutuuka ku lupapula 104 akatundu 1; w09 6/15 olupapula 12 katundu 7.
Oluyimba 23