Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Maayi: Watchtower ne Awake! Bwe muddayo eri abo abaagala okumanya ebisingawo nga mw’otwalidde n’abo abaaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo oba ku nkuŋŋaana ennene naye nga tebatera kubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, mubawe akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Tubeere n’ekiruubirirwa eky’okutandika okubayigiriza Baibuli. Jjuuni: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Abantu abasangiddwa nga bakalina, ababuulizi bayinza okubawa akatabo Sinza Katonda Omu Ow’Amazima, Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwawo, oba brocuwa Katonda Atwetaagisa Ki? Jjulaayi ne Agusito: Ababuulizi bayinza okugaba brocuwa zonna ezirina empapula 32 ze mulina mu terekero ly’ebitabo mu kibiina. Okusingira ddala mugabe brocuwa Katonda Atwetaagisa Ki?, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo Olizudde?, ne Beera Bulindaala! Ekibiina bwe kiba tekirina brocuwa zino essatu, muziragirize mu kiseera ekituufu.