Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ssebutemba 20
WIIKI ETANDIKA SSEBUTEMBA 20
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 23 ¶19-23, akas. ku lup. 239
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: 2 Bassekabaka 19-22
Na. 1: 2 Bassekabaka 20:1-11
Na. 2: Lwaki Tulina Okuba Abateefu? (Mat. 5:5)
Na. 3: Omuntu Asobola Atya Okwagala Katonda ate n’Aba ng’Amutya? (rs-E lup. 198 ¶4–lup. 199 ¶1)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Twakola Tutya Omwaka Oguwedde? Kwogera nga kwa kuweebwa omulabirizi w’obuweereza. Yogera ku ebyo ekibiina kyammwe bye kyakola mu mwaka gw’obuweereza oguwedde, ng’essira oliteeka ku birungi ebyatuukibwako era beebaze olw’ebirungi bye baakola. Buuza omubuulizi omu oba babiri boogere ku birungi bye baafuna mu buweereza bwabwe. Yogera ku kintu kimu oba bibiri ekibiina kyammwe bye kyetaaga okukolako mu mwaka guno omupya ogw’obuweereza, era owe amagezi ku ngeri kino gye kiyinza okukolebwamu.
Ddak. 10: “Obulagirizi eri Abo Abakubiriza Ebitundu mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza.” Okwogera nga kwa kuweebwa mukadde.
Ddak. 10: Yamba Omwana Wo Okufuuka Omubuulizi. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Organized olupapula 82. Buuza omuzadde assaawo ekyokulabirako ekirungi alina omwana nga mubuulizi atali mubatize. Yayamba atya omwana we okukulaakulana n’okufuna ebisaanyizo eby’okufuuka omubuulizi?