Osobola Okwenyigira mu Buweereza ku Ssande?
1. Kiki kye tuyigira ku ekyo Pawulo ne banne kye baakola mu Firipi?
1 Lwali lunaku lwa Ssabbiiti, olunaku Abayudaaya abasinga obungi mu Firipi lwe baawummulirangako. Pawulo ne banne baali bakyalidde ekibuga ekyo nga bali ku lumu ku ŋŋendo zaabwe ez’obuminsani. Tewali n’omu yandibanenyezza singa nabo baali basazeewo okuwummulako ne batagenda kubuulira ku lunaku olwo. Naye olw’okuba baali bakimanyi nti Abayudaaya bakuŋŋaanidde wabweru w’ekibuga okusaba, baakozesa akakisa ako okubabuulira. Nga Pawulo ne banne bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo Liidiya bwe yabawuliriza era ye n’ab’omu maka ge bonna ne babatizibwa! (Bik. 16:13-15) Okuva bwe kiri nti abantu bangi bawummula ku Ssande, lwaki tokozesa ebimu ku biseera byo ku lunaku olwo okubabuulira?
2. Buzibu ki abantu ba Yakuwa bwe bavvuunuka okusobola okubuulira ku Ssande awatali kuziyizibwa?
2 Okuvvuunuka Okuziyizibwa Okubuulira ku Ssande: Mu mwaka gwa 1927, abantu ba Yakuwa baakubirizibwa okukozesa ebimu ku biseera byabwe buli lwa Ssande okubuulira. Nga baakatandika okukikola baayolekagana n’okuziyizibwa. Mu Amerika, bangi baakwatibwa nga bavunaanibwa okumenya amateeka ga Ssabbiiti eya Ssande, okumalako abantu emirembe gyabwe, n’okutunda ebitabo nga tebaweereddwa lukusa. Naye ekyo abantu ba Yakuwa tekyabamalaamu maanyi. Mu myaka gya 1930, bassaawo ‘kaweefube,’ ne kiba nti ab’oluganda okuva mu bibiina ebiriraanyeewo baasisinkaniranga mu kifo kimu basobole okumalako ekitundu kye baali babuuliramu. Emirundu egimu ab’obuyinza bwe baabanga bazze okubakwata, ababuulizi baabanga bangi nnyo ne kiba nti kyabanga kizibu okubaziyiza okubuulira. Osiima obumalirivu bw’ab’oluganda abo n’okwefiiriza kwe baakola ne kiba nti tusobola okubuulira ku Ssande awatali kuziyizibwa?
3. Kiki ekireetera olunaku lwa Ssande okuba olulungi ennyo okugenderako okubuulira?
3 Olunaku Olulungi Ennyo Okugenda Okubuulira: Abantu bangi babeerawo awaka ku Ssande. Batera okuba nga tebalina bya kukola bingi. Abamu ku abo abatera okugenda mu makanisa gaabwe okusaba, bayinza okwagala okuwuliriza ebikwata ku Katonda ku lunaku olwo. Bwe kiba nti enkuŋŋaana zaffe zibaawo ku Ssande, tuba twambadde nga bwe twambala bulijjo nga tugenda okubuulira, n’olw’ekyo lwaki tokola nteekateeka ya kugenda kubuulira ng’enkuŋŋaana tezinnaba oba nga ziwedde? Bwe kiba kyetaagisa, oyinza okutwala eky’okulya ekitonotono.
4. Miganyulo ki gye tuyinza okufuna singa tukozesa ebimu ku biseera byaffe ku Ssande okugenda okubuulira?
4 Bwe tukozesa ebimu ku biseera byaffe ku Ssande okugenda okubuulira, tujja kuba tukyalinawo ebiseera bye twetaaga okuwummulako. Tujja kuwummula nga tuli basanyufu era nga tuli bamativu olw’okwenyigira mu buweereza obutukuvu. (Nge. 19:23) Kiyinza n’okutusobozesa okufuna abantu abalinga Liidiya!