Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maayi 23
WIIKI ETANDIKA MAAYI 23
Oluyimba 39 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 3 ¶20-26, akas. ku lup. 38 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Zabbuli 19-25 (Ddak. 10)
Na. 1: Zabbuli 23:1–24:10 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Abayudaaya Bonna Ekiseera Kirituuka ne Bakkiririza mu Kristo?—rs-E lup. 222 ¶1-2 (Ddak. 5)
Na. 3: Ebyogerwako mu Abaruumi 8:21 Binaatuukirizibwa Ddi era Bitya? (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Ebirango. “Engeri y’Okukozesaamu Foomu Eyitibwa Please Follow Up (S-43).” Kukubaganya birowoozo.
Ddak. 10: Ebintu Bisatu Ebikusobozesa Okuba n’Ennyanjula Ennungi. Kwogera nga kwesigamiziddwa ku katabo Reasoning, olupapula 9, akatundu 1. Oluvannyuma, laga ebyokulabirako bibiri ku ngeri y’okugabamu ebitabo ebinaagabibwa mu Jjuuni.
Ddak. 15: Ogezezzaako Okukozesa Amagezi Gano? Kukubaganya birowoozo. Ng’olinga awa emboozi, yogera mu bufunze ku ebyo ebiri mu bitundu bino ebyafulumira mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka gye buvuddeko awo: “Gikozese Buli lw’Ofuna Akakisa,” ne “Ekitundu Ekipya Ekinaatuyamba Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli” (km 12/10), ate era ne “Enteekateeka Eganyula Amaka” (km 1/11). Saba abawuliriza boogere ku ngeri gye bakozesezzaamu amagezi agali mu bitundu bino n’engeri gye baganyuddwamu.
Oluyimba 56 n’Okusaba