Gikozese Buli lw’Ofuna Akakisa
1. Tulakiti Okumanya Amazima eyinza kutuyamba etya?
1 Tulakiti Wandyagadde Okumanya Amazima? yategekebwa okutuyamba okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli. Ate era y’emu ku bintu ebirungi ennyo bye tusobola okukozesa okusiga ensigo ez’amazima mu bifo ebitali bimu. (Mub. 11:6) Amagezi gano wammanga gajja kutuyamba okugikozesa obulungi.
2. Tuyinza tutya okukozesa tulakiti eyo okutandika okunyumya n’omuntu?
2 Ng’Otandika Okunyumya n’Omuntu: Oyinza okugiwa nnyinimu, n’omulaga ebibuuzo omukaaga ebiri ku tulakiti eyo, era n’omubuuza nti: “Kibuuzo ki ku bino kye wali weebuuzizzaako?” Ng’amaze okukuddamu, mukubaganye ebirowoozo ku katundu akali mu tulakiti akalaga engeri Bayibuli gy’eddamu ekibuuzo ekyo era musomere wamu ekimu ku byawandiikibwa ebiweereddwa. Soma oba yogera mu bufunze ku ebyo ebiri emabega wa tulakiti, era omuwe akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Ne bw’aba agaanye akatabo, aba afunye tulakiti, eyinza okuleetera ensigo ey’amazima okumera mu mutima gwe.—Mat. 13:23.
3. Singa nnyinimu aba n’eby’okukola bingi, kiki ky’oyinza okukola?
3 Nga Nnyinimu Alina eby’Okukola Bingi: Oyinza okugamba nti: “Okuva bwe kiri nti olina by’okola, ka nkulekere ka tulakiti kano. Kaliko ebibuuzo mukaaga ebikulu abantu bye beebuuza era kalaga engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebyo. Bwe naakomawo, nja kuba musanyufu okumanya ky’olowooza ku bibuuzo ebyo.”
4. Kiki kye tuyinza okwogera bwe tuba tugaba tulakiti nga tubuulira ku luguudo?
4 Nga Tubuulira ku Nguudo: Oyinza okugamba nti: “Ssebo oba Nnyabo, wali weebuuzizzaako ekimu ku bibuuzo bino? [Muleke abeeko ky’addamu.] Wano waliwo eby’okuddamu ebiggiddwa mu Bayibuli ebitegeerekeka obulungi era ebimatiza.” Omuntu bw’aba nga tali mu bwangu, oyinza okukubaganya naye ebirowoozo ku ky’okuddamu ekiri mu tulakiti era n’omuwa n’akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza.
5. Emirundi egimu tuyinza tutya okukozesa tulakiti mu maka we tuba tutasanze bantu?
5 Nga Tetusanze Bantu Waka: Mu bitundu ebimu, ababuulizi batera okuleka ebitabo byaffe mu maka mwe baba batasanze bantu era mu kifo omuntu yenna ayitawo w’atasobola kubirabira. Bwe muba nga bwe mutyo bwe mukola mu kibiina kyammwe, lwaki emirundi egimu toleka tulakiti Okumanya Amazima w’oba tosanze bantu? Bw’oba ozzeeyo oyinza okugamba nti: “Twajjako wano ne tutabasangawo, ne tusonseka tulakiti eno wansi w’oluggi. Ku bibuuzo bino kiruwa kye wandyagadde okuddibwamu?”
6. Lwaki tulakiti Okumanya Amazima nnungi nnyo okukozesa mu kubuulira?
6 Tulakiti Okumanya Amazima ennyonnyola amazima mu ngeri ennyangu era etuukira ku nsonga. Esikiriza abantu ab’amadiini gonna n’obuwangwa obw’enjawulo. Nnyangu okugaba; n’omwana omuto era n’omubuulizi omupya basobola okugigaba. Ogikozesa buli lw’oba ofunye akakisa?