Kozesa Tulakiti Empya Ekwata ku Mukutu Gwaffe
Tulakiti eyo erina omutwe ogugamba nti Wa We Tusobola Okufuna eby’Okuddamu mu Bibuuzo Ebikulu Ennyo mu Bulamu? Ebimu ku bibuuzo ebyo biri mabega ku tulakiti eyo. Oyinza okusaba omuntu alondeko ky’ayagala kiddibwemu, oluvannyuma n’omulagirira ku mukutu gwaffe ku EBITABO > EBITABO N’OBUTABO asobole okufuna eky’okuddamu. Ate era asobola okuwanulako akatabo Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda akaddamu ebibuuzo bino: Obwakabaka bwa Katonda kye ki? Kiki Obwakabaka bwa Katonda kye bunaakola?
Tambulanga ne tulakiti eno osobole okuyamba abantu okumanya ebyo Obwakabaka bwa Katonda bye bunaatukolera mu biseera eby’omu maaso.