Oluyimba 39
Emirembe gye Tulina
Mu Kyapa
1. Yakuwa wa mirembe,
Era n’obumu.
Aliggyawo entalo,
Tube n’obumu.
’Mwana we wa Mirembe,
Era wa kisa;
Emirembe gyennyini,
Tuligifuna.
2. ’Bigambo ebivuma,
Twabireka dda.
’Bitala n’amafumu,
Ffe tubyesamba.
Tukuume emirembe,
Nga tusonyiwa.
Ng’endiga eza Yesu,
Tujja kwekuuma.
3. ’Mirembe kibala kya
Butuukirivu;
Gyoleka amagezi,
’Gava waggulu.
’Mirembe tugirage,
Abantu bonna,
’Kiseera kinaatuuka
Gibune wonna.
(Era laba Zab. 46:9; Is. 2:4; Yak. 3:17, 18.)