Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maayi 30
WIIKI ETANDIKA MAAYI 30
Oluyimba 33 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 4 ¶1-6 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Zabbuli 26-33 (Ddak. 10)
Na. 1: Zabbuli 31:9-24 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Abamu ku Bantu Abeetoowaze Aboogerwako mu Bayibuli (Ddak. 5)
Na. 3: Abayudaaya Balina Okukkiririza mu Yesu Okusobola Okulokolebwa?—rs-E lup. 222 ¶3–lup. 223 ¶1 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Ebirango. Ng’okozesa ennyanjula eweereddwa ku lupapula 4, laga ekyokulabirako ku ngeri gy’oyinza okutandika okuyigiriza omuntu Bayibuli ku Lwomukaaga olusooka mu mwezi gwa Jjuuni. Kubiriza bonna okujjumbira enteekateeka eno.
Ddak. 15: Engeri y’Okunoonyerezaamu. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 33-38. Funa omubuulizi yeewuunaganye ng’akozesa ebikozesebwa mu kunoonyereza okusobola okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyamubuuziddwa ng’ali mu kubuulira.
Ddak. 10: Weeteekereteekere Okugaba Magazini mu Jjuuni. Kukubaganya birowoozo. Mu ddakiika emu oba bbiri nokolayo ebimu mu lukalala lw’ebyo ebiri mu magazini ezaakafuluma ze mulina mu kibiina kyammwe. Oluvannyuma londa ebitundu bibiri oba bisatu, era osabe abawuliriza boogere ebibuuzo n’ebyawandiikibwa bye bayinza okukozesa nga bazigaba. Laga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo.
Oluyimba 113 n’Okusaba