Engeri y’Okukozesaamu Foomu Eyitibwa Please Follow Up (S-43)
Osaanidde okujjuzaamu foomu eno singa oba osanze omuntu alaze okusiima naye nga tabeera mu kitundu kye mubuuliramu oba oyo ayogera olulimi olugwira. Wadde nga emabega twagikozesanga nga tusanze abantu aboogera olulimi olugwira ababanga balaze okusiima n’abo ababanga batakulaze, kati tugikozesa olwo lwokka lwe tuba tusanze omuntu alaze okusiima. Kyokka, singa tusanga kiggala, k’abe ng’alaze okusiima oba nga takulaze, tusaanidde okujjuzaamu foomu eyo eyitibwa S-43.
Kiki kye tusaanidde okukola nga tumaze okujjuzaamu foomu eyo? Tusaanidde okugiwa omuwandiisi w’ekibiina. Bw’aba ng’amanyi ekibiina gy’erina okuweerezebwa, ayinza okugiweereza abakadde b’ekibiina ekyo basobole okukola enteekateeka ey’okukyalira omuntu oyo alaze okusiima. Bw’aba nga tamanyi kibiina gy’erina kuweerezebwa, aba alina okuweereza foomu eyo ku ofiisi y’ettabi.
Bwe kiba nti omuntu alaze okusiima ayogera lulimi lugwira era ng’abeera mu kitundu kye mubuuliramu, oyinza okwongera okumuyamba okukulaakulanya okusiima kwe okutuusa ng’afunye ow’oluganda okuva mu kibiina ekyogera olulimi lwe.—Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 2009, olupapula 4.