Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjuuni 6
WIIKI ETANDIKA JJUUNI 6
Oluyimba 68 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 4 ¶7-14 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Zabbuli 34-37 (Ddak. 10)
Na. 1: Zabbuli 35:1-18 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Ebiriwo mu lsiraeri Leero Bituukiriza Obunnabbi bwa Bayibuli?—rs-E lup. 223 ¶2–lup. 224 ¶2 (Ddak. 5)
Na. 3: Kiki Kye Tuyigira ku Bye Tusoma mu Lukka 12:13-15, 21? (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Kozesa Ebibuuzo Okusobola Okuyigiriza Obulungi—Ekitundu 2. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 237 akatundu 3, okutuuka ku lupapula 238, akatundu 5. Mu bufunze, laga ekyokulabirako kimu oba bibiri ku ngeri y’okukozesaamu amagezi agaweereddwa mu kitundu ekyo.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Birungi Ki Ebyava mu Ebyo Bye Twakola? Kukubaganya birowoozo nga kwa kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Bonna basiime olw’ebyo bye baakola mu kiseera ky’Ekijjukizo, era babuulire ebirungi ebyava mu ebyo ebyakolebwa. Saba abawuliriza boogere ebyokulabirako oba ku birungi ebyavaamu bwe baali baweereza nga bapayoniya abawagizi mu Maaki, Apuli, ne Maayi.
Oluyimba 83 n’Okusaba