Oluyimba 126
Okufuba Kwaffe Okwoleka Okwagala
Mu Kyapa
1. Yakuwa olwa leero,
Tukwebaliza ddala nnyo.
Mazima otuwadde enkizo
ya maanyi nnyo!
’Kufuba kwaffe kwonna
Okuwadde omukisa.
Kati ekizimbe kiikino,
Kiyimiridde.
(CHORUS)
Yakuwa otuwadde ’nkizo
’Kkuzimbira ’kifo kino.
Ka tweyongere ’kkuweereza ’bbanga lyonna
Tukuweesenga ettendo.
2. Tufunye ’ssanyu lingi,
Era n’emikwano mingi!
Tetuyinza kwerabira
birungi bwe biti!
’Mwoyo gwo gweyoleka
Mu bujjuvu nga tuzimba.
’Ttendo lyeyongedde; ’ttuttumu lyo
Lyeyongedde.
(CHORUS)
Yakuwa otuwadde ’nkizo
’Kkuzimbira ’kifo kino.
Ka tweyongere ’kkuweereza ’bbanga lyonna
Tukuweesenga ettendo.
(Era laba Zab. 116:1; 147:1; Bar. 15:6.)