Munoonye Aboogera Olulimi Olukozesebwa mu Kibiina Kyammwe
1. Lwaki ebitundu eby’okubuuliramu omuli abantu aboogera ennimi ez’enjawulo bigabanyizibwamu okusinziira ku lulimi?
1 Oluvannyuma lw’okufukibwako omwoyo omutukuvu ku Pentekooti ey’omwaka 33 E.E., abayigirizwa ba Yesu ‘baatandika okwogera mu nnimi ez’enjawulo’ eri abo abaali bavudde mu bitundu by’ensi ebitali bimu. (Bik. 2:4) N’ekyavaamu, abantu nga 3,000 baabatizibwa. Kirabika abantu abasinga obungi abaali bazze mu kitundu ekyo baali bamanyi olulimi olwali lusinga okukozesebwa mu kiseera ekyo, oboolyawo Olwebbulaniya oba Oluyonaani. Kyokka, Yakuwa yasalawo abantu abo babuulirwe obubaka bw’obwakabaka mu nnimi zaabwe enzaaliranwa. Awatali kubuusabuusa, emu ku nsonga lwaki Yakuwa yakola bw’atyo eri nti abantu basinga kukwatibwako nga bawulidde amawulire amalungi mu lulimi lwabwe. Eyo ye nsonga lwaki leero ebitundu eby’okubuuliramu omuli abantu aboogera ennimi ez’enjawulo bigabanyizibwamu okusinziira ku lulimi. (Organized, lup. 107, kat. 2-3) Ebibinja ebikozesa ennimi engwira tebiweebwa kitundu kya kubuuliramu, naye bibuulira abantu aboogera ennimi ezo abali mu kitundu ekibiina ekibiwagira kye kibuuliramu n’ebitundu ebibiina ebirala mwe bibuulira.
2. (a) Okunoonya abantu aboogera olulimi lwe mukozesa kuzingiramu ki, era kuyinza kukolebwa mu bitundu bya ngeri ki? (b) Ebibiina biyinza kuyambagana bitya nga bibuulira mu kitundu omuli abantu aboogera ennimi ez’enjawulo? (c) Kiki kye tusaanidde okukola singa tusanga omuntu eyandyagadde okuyiga naye ng’ayogera lulimi lulala?
2 Bw’oba ng’obeera mu kitundu omuli abantu aboogera olulimi lwe lumu, kikwanguyira okubuulira nnyumba ku nnyumba. Kyokka, si bwe kityo bwe kiba bw’oba ng’obeera mu kitundu omuli abantu aboogera ennimi ez’enjawulo. Ebibiina ebikozesa ennimi endala biyinza okuba nga bibuulira mu kitundu kye mubuuliramu. Wadde nga ebibiina ebyo biyinza okubategeeza abantu aboogera olulimi lwe mukozesa we bali, ekibiina kyammwe oba ekibinja kyammwe kye kirina obuvunaanyizibwa obw’okunoonya abantu abo n’okubabuulira. (Laba akasanduuko “Muyambagane.”) N’olwekyo kiyinza okubeetaagisa okunoonya, nga mubuuliriza wa we musobola okusanga abantu aboogera olulimi lwe mukozesa. Muyinza kubanoonya mutya?
3. Ekibiina oba ekibinja kisinziira ku ki okumanya aw’okunoonyeza abantu n’ekiseera kye basaanidde okumala nga babanoonya?
3 Okunoonya Abantu mu Ngeri Entegeke: Ekiseera kye musaanidde okumala nga munoonya abantu aboogera olulimi lwe mukozesa kisinziira ku kitundu kyammwe. Ng’ekyokulabirako, bantu bameka abali mu kitundu kyammwe aboogera olulimi olwo? Mulina ababuulizi bameka? Ekibiina kyammwe oba ekibinja kyammwe kirinawo abantu bameka abali ku lukalala abalina okunoonyezebwa? Ekibiina tekirina kumala bbanga lye limu nga kinoonya mu bitundu eby’enjawulo, wabula kiyinza okussa essira ku bitundu omuli abantu abangi era eby’okumpi. Okunoonya abantu mu ngeri entegeke obulungi kikulu nnyo kubanga kisobozesa bangi okufuna akakisa ak’okukoowoola erinnya lya Yakuwa.—Bar. 10:13, 14.
4. (a) Omulimu gw’okunoonya abantu gusaanidde kutegekebwa gutya? (b) Ezimu ku ngeri eziyinza okukozesebwa okunoonya abantu aboogera olulimi lwe mukozesa ze ziruwa?
4 Okusobola okwewala okwonoona ebiseera nga munoonya abantu, abakadde naddala omulabirizi w’obuweereza, basaanidde okukola enteekateeka ennungi n’okulabirira omulimu ogwo. (1 Kol. 9:26) Mu kibinja ekikozesa olulimi olulala, ow’oluganda alina ebisaanyizo, nnaddala omukadde oba omuweereza aba alondeddwa abakadde b’omu kibiina ekiwagira ekibinja ekyo asobola okulabirira omulimu gw’okunoonya abantu. Ebibiina bingi n’ebibinja ebitali bimu bisooka okunoonya abantu aboogera olulimi lwe bikozesa, oboolyawo nga bikozesa ebitabo ebirimu endagiriro oba Intaneeti okufuna amannya g’abo aboogera olulimi lwe lumu. Oluvannyuma banoonya abantu abo nga babakubira amasimu oba nga babakyalira okusobola okumanya abo abanaateekebwa ku lukalala lw’abo abaagala okuyiga. Bwe kiba kituukirawo, oluusi n’oluusi abakadde ab’omu kibiina ekiwagira ekibinja bayinza okukola enteekateeka ekibiina kyonna ne kyenyigira mu kunoonya abantu.—Laba akasanduuko “Engeri y’Okunoonya Aboogera Olulimi lwe Mukozesa.”
5. (a) Magezi ki agaweereddwa ababuulizi abanoonya abantu aboogera ennimi endala? (b) Biki bye tuyinza okwogera nga tunoonya abantu ng’abo?
5 Buli lwe tuba tugenze okunoonya abantu tusaanidde okuba n’ekigendererwa. Okuva bwe kiri nti tuba mu buweereza tusaanidde okwambala mu ngeri esaanira. Bangi bakisanze nti okwegezaamu mu nnyanjula zaabwe n’okukozesa olulimi lw’abo be banoonya kibayamba okwogera n’ebbugumu n’okwongera okuluyiga. Tusobola okubala essaawa ze tumala nga tunoonya abantu naye tetusaanidde kubala ezo ze tumala nga tuteekateeka mmaapu z’ekitundu eky’okubuuliramu n’enkalala z’abo be tuba tugenda okukyalira. Bwe tusanga omuntu oyogera olulimi olwo, tusaanidde okumubuulira amawulire amalungi n’oluvannyuma ne tutegeeza omulabirizi w’obuweereza oba oyo amuyambako asobole okumuteeka ku lukalala. Ekyo tusaanidde okukikola ka kibe nti omuntu tasiimye bubaka bwaffe. Wadde nga kikulu nnyo okunoonya abantu ng’abo, tetusaanidde kulagajjalira ngeri ndala ez’okubuulira.—Laba akasanduuko “Bye Tuyinza Okwogera nga Tunoonya Abantu.”
6. Kusomoozebwa ki okuli mu kunoonya bakiggala?
6 Okunoonya Bakiggala: Okunoonya bakiggala kulimu okusoomoozebwa kwa maanyi era kyetaagisa okufuba n’obutalekulira. Kiggala tosobola kumumanyira ku linnya lye, endabika ye, oba ennyambala ye. Okugatta ku ebyo, ab’eŋŋanda ze ne mikwano gye bayinza okutya okukutegeeza ebimukwatako. Amagezi agaweereddwa wammanga agakwata ku kunoonya bakiggala nago tusobola okugakozesa nga tunoonya abantu abawulira.
7. (a) Biki bye tuyinza okukola nga tunoonya bakiggala mu bitundu omubeera abantu abangi? (b) Kiki kye tusaanidde okukola omuntu gwe tubuuza bakiggala we bali aleme okutwekengera?
7 Ababuulizi abali mu bibiina n’ebibinja ebikozesa olulimi lwa bakiggala bafuna bakiggala nga babuuliriza mu bitundu omubeera abantu abangi. Oboolyawo, oyo gw’osanze yali alabyeko muliraanwa we, mukozi munne, oba muyizi munne ng’akoze olulimi lwa bakiggala. Ayinza okuba ng’alina we yalaba akapande akalabula abavuzi b’ebidduka nti mu kifo ekyo waliwo bakiggala. Kiyinzika okuba nti omu ku b’eŋŋanda ze kiggala. Kijjukire nti omuntu ayinza okukwekengera. Naye bw’oyogera mu bufunze, mu ngeri ey’omukwano era eraga nti omuwa ekitiibwa, kiyinza okuyambako. Ababuulizi abamu balaga omuntu Bayibuli eri ku DVD oba DVD endala eziri mu lulimi lwa bakiggala, ne balyoka bamubuuza obanga waliwo kiggala yenna gw’amanyi. Oluvannyuma bamugamba nti bandyagadde okubuulirako bakiggala essuubi eriri mu Bayibuli. Oyo gw’osanze bw’atya okukubuulira ebikwata ku kiggala gw’amanyi, oyinza okumulekera endagiriro yo oba akapapula akaaniriza abantu mu nkuŋŋaana, akamuwe.
8. Ekibiina ekikozesa olulimi olulala kiyinza kitya okuyambako ekibiina ekikozesa olulimi lwa bakiggala?
8 Omulundi gumu oba ebiri mu mwaka, ekibiina ekikozesa olulimi lwa bakiggala kiyinza okuyita ababuulizi ab’omu kibiina ekikozesa olulimi olulala babayambeko okunoonya bakiggala mu kitundu kyabwe ekirimu abantu abangi. Ng’akubiriza olukuŋŋaana olw’okugenda okunoonya bakiggala, ow’oluganda ow’omu kibiina ekikozesa olulimi lwa bakiggala asaanidde okuwa obulagirizi obukwata ku ngeri y’okubanoonyaamu n’okulaga ekyokulabirako. Buli kibinja kisaanidde okuweebwa waakiri omubuulizi omu amanyi olulimi lwa bakiggala ne mmaapu eraga ekitundu mwe bagenda okunoonya bakiggala.
9. Tuyinza tutya okunoonya bakiggala mu bifo gye bakuŋŋaanira okufuna obuyambi oba okwesanyusaamu?
9 Ate era, muyinza okubanoonyeza gye batera okukuŋŋaanira okufuna obuyambi oba okwesanyusaamu. Ababuulizi basaanidde okwambala mu ngeri esaanira. Kiba kirungi okwogera n’omuntu omu oba babiri era n’okukozesa amagezi mu kifo ky’okwogera n’ekibinja kyonna omulundi gumu. Bwe balaga okusiima, muyinza okufuna endagiriro yaabwe nammwe ne mubalekera eyammwe.
10. Ababuulizi bayinza batya okunoonya bakiggala mu bitundu omukolerwa bizineesi?
10 Musobola n’okuteekateeka mmaapu eziraga ebitundu omukolerwa bizineesi era ne mugendayo mu kiseera ekituufu. Mmaapu emu eyinza okubaako amasundiro g’amafuta. Endala ziyinza okubaako ebifo mwe booleza engoye, ebifo mwe batundira eby’okulya, wooteeri, oba we bakolera bizineesi endala. Mmaapu bw’eba eriko ekika kimu ekya bizineesi, ababuulizi basobola okukozesa ennyanjula y’emu ne kibayamba okufuna obumanyirivu. Ng’ekyokulabirako, okuva bwe kiri nti wooteeri zitera okufuna bakasitoma nga bakiggala, oyo ayaniriza abagenyi tuyinza okumunnyonnyola mu bufunze ebikwata ku mulimu gwaffe, era ne tumulekera DVD ez’enjawulo n’obupapula obwaniriza abantu mu nkuŋŋaana abiwe bakiggala ababa bazze ku wooteeri. Mu bifo ebimu omukolerwa bizineesi, tuyinza okubuuza obanga waliwo abakozi oba bakasitoma nga bakiggala. Bwe kiba nti waliwo essomero lya bakiggala mu kitundu kye tubuuliramu, tuyinza okubasaba ne tubawa ezimu ku DVD zaffe ne baziteeka mu tterekero lyabwe ery’ebitabo.
11. Lwaki okunoonya abantu aboogera olulimi olulala mulimu mukulu nnyo?
11 Omulimu Guno Mukulu Nnyo: Kitwala ebiseera bingi okunoonya abantu aboogera olulimi olulala. Okugatta ku ekyo, olw’okuba abantu basengukasenguka, kiyinza obutaba kyangu kubayamba. Wadde kiri kityo, mu bitundu ebitali bimu, okunoonya abantu aboogera olulimi olulala kivuddemu ebibala bingi. Yakuwa atuwadde omulimu guno ogw’okubuulira tasosola. (Bik. 10:34) “Ayagala abantu aba buli ngeri okulokolebwa era bategeerere ddala amazima.” (1 Tim. 2:3, 4) N’olwekyo, ka tufube okugoberera obulagirizi Yakuwa bw’atuwa n’okukolaganira awamu tusobole okufuna abantu aboogera olulimi olulala abalina “omutima omulungi.”—Luk. 8:15.
[Akasanduuko akali ku lupapula 5]
Muyambagane
Ekibiina oba ekibinja bwe kiba kyetaaga okuyambibwako mu kunoonya abantu aboogera olulimi lwe kikozesa, omulabirizi w’obuweereza asobola okwogera n’abakadde ab’omu bibiina ebikozesa ennimi endala. Kiba kirungi okwogerako n’abo bokka abali mu bibiina ebitali bya wala nnyo oba ebyo ebirina ebitundu nga birimu abantu bangi aboogera olulimi olwo. Abakadde ab’omu bibiina ebiba bisabiddwa obuyambi basaanidde okutegeeza ababuulizi nti singa basanga omuntu ayogera olulimi olwo, basaanidde okuwandiika endagiriro ye bagiwe omulabirizi w’obuweereza agiweereze eri ekibiina oba ekibinja ekyasaba obuyambi. Abalabirizi b’obuweereza ab’omu bibiina ebibuulira mu kitundu omuli abantu aboogera ennimi ez’enjawulo, basaanidde okukola enteekateeka eneebasobozesa okumalako ekitundu ekyo n’okulagirira abantu abo mu kibiina oba mu kibinja ekikozesa olulimi lwabwe.
Singa ababuulizi basanga omuntu ayogera olulimi olulala n’alaga okusiima (oba kiggala), basaanidde okujjuzaamu foomu eyitibwa Please Follow Up (S-43) amangu ddala, era ogiwe omuwandiisi w’ekibiina kyo. Kino kijja kusobozesa ab’oluganda okumuyamba mu by’omwoyo mu bwangu.—Laba km 5/11 lup. 3.
[Akasanduuko akali ku lupapula 6]
Engeri y’Okunoonya Aboogera Olulimi Lwe Mukozesa
• Buuza abantu abalala—Abayizi ba Bayibuli, ab’eŋŋanda zo, bakozi banno, n’abalala.
• Kozesa ebitabo ebibeeramu ennamba z’amasimu osobole okumanya amannya g’abantu aboogera olulimi lwe mukozesa. Ate era, ebitabo ebibeeramu amannya g’abantu n’endagiriro zaabwe oyinza okubisanga ku Intaneeti oba mu makampuni g’amasimu.
• Mu ngeri ey’amagezi, buuliriza mu bifo nga, amaterekero g’ebitabo, ofiisi za gavumenti, n’amatendekero.
• Kebera mu mpapula z’amawulire omanye ebifo abantu aboogera olulimi olugwira we bategese okukuŋŋaanira.
• Genda mu maduuka oba mu bifo omukolerwa bizineesi, abantu aboogera olulimi olwo gye batera okugula ebintu.
• Saba olukusa ofune w’oteeka ebitabo byaffe mu bifo omukolerwa bizineesi, mu yunivasite, mu bifo awasimba ebidduka, abantu aboogera olulimi olwo we batera okubeera.
• Bwe kiba kikkirizibwa mu mateeka mu nsi yammwe, gula ekitabo omubeera endagiriro z’abantu oba programu ya kompyuta esobola okukuyamba okufuna endagiriro z’abantu ku Intaneeti.
[Akasanduuko akali ku lupapula 7]
Bye Tuyinza Okwogera nga Tunoonya Abantu
Bw’oyogera mu ngeri ey’omukwano era mu bwesimbu, oyo gw’oyogera naye tajja kukwekengera. Kiba kirungi okusooka okumulaga ekimu ku bitabo byaffe eby’olulimi olwo.
Oluvannyuma lw’okumulamusa, oyinza okumugamba nti: “Tunoonya abantu aboogera olulimi ․․․․․ tubabuulireko ku ssuubi eriri mu Bayibuli. Olina omuntu yenna gw’omanyi ayogera olulimi olwo?”
Bwe muba munoonya bakiggala muyinza okugamba nti: “Nkulamusizza nnyo. Waliwo kye nnandyagadde okukulaga. [Mulage olunyiriri okuva mu nkyusa ya Bayibuli eya New World Translation nga lulagibwa ku DVD.] Luno lwe lumu ku nnyiriri eziri mu Bayibuli eri mu lulimi lwa bakiggala. Ng’oggyeko Bayibuli, tulina ne vidiyo ezitatundibwa eziyamba bakiggala okumanya ebikwata ku Katonda. Waliwo kiggala gw’omanyi oba omuntu yenna atawulira bulungi akozesa olulimi lwa bakiggala?” Oyo gw’osanze awaka bw’aba talina gw’ajjukira, kiba kirungi okumujjukiza w’ayinza okuba nga yali alabyeko kiggala, gamba nga ku mulimu, ku ssomero, oba ku muliraano.