LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 11/15 lup. 30-32
  • Baganda Baffe Bakiggala Batwale nga ba Muwendo!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Baganda Baffe Bakiggala Batwale nga ba Muwendo!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ng’Obuyambi Obuliwo Leero Tebunnabaawo
  • Oyinza Kukola Ki?
  • ‘Amaaso ga Yakuwa Gabaakira’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Fuba Okuzuula Bakiggala Abali mu Bitundu Bye Mubuuliramu
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Okubeera Kiggala Tekinnemesezza Kuyigiriza Balala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Munoonye Aboogera Olulimi Olukozesebwa mu Kibiina Kyammwe
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 11/15 lup. 30-32

Baganda Baffe Bakiggala Batwale nga ba Muwendo!

ABANTU ba Katonda bonna leero bali bumu mu luganda olw’eby’omwoyo, era nga kibadde kityo okuviira ddala ku baweereza ba Katonda ab’edda. Mu bano mwe muli Samwiri, Dawudi, Samusooni, Lakabu, Musa, Ibulayimu, Saala, Nuuwa, ne Abbeeri. Abaweereza ba Yakuwa abeesigwa abamu bakiggala. Ng’ekyokulabirako, abantu ababiri abasooka okufuuka Abajulirwa ba Yakuwa mu Mongolia baali bakiggala, omwami ne mukyala we. Era olw’obwesigwa bakkiriza bannaffe bakiggala ab’omu Russia bwe baalaga, twasobola okutuuka ku buwanguzi mu kkooti ya Bulaaya ekola ku nsonga z’eddembe ly’obuntu.

Leero, “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” afulumya ebitabo ne vidiyo era ateeketeeka enkuŋŋaana z’ekibiina n’enkuŋŋaana ennene mu lulimi lwa bakiggala. (Mat. 24:45) Bino byonna biganyudde nnyo bakiggala.a Naye wali olowoozezza ku buzibu bakiggala bwe baayitangamu okuyiga amazima n’okukulaakulana nga tebalina buyambi ng’obwo? Wali olowoozezza ku ngeri gy’oyinza okuyambamu bakiggala abali mu kitundu kyo?

Ng’Obuyambi Obuliwo Leero Tebunnabaawo

Lwaki tobuuza bakiggala abaludde nga baweereza Katonda engeri gye baayigamu amazima? Bayinza okukunnyonnyola engeri gye baakwatibwako bwe baakitegeera nti Katonda alina erinnya​—ng’ekyo kyokka kyabayamba okukola enkyukakyuka mu bulamu n’okunywerera ku mazima okumala emyaka mingi okutuusa entambi za vidiyo oba DVD lwe zajja, ne basobola okuyiga ebisingawo mu Byawandiikibwa. Bayinza okukubuulira obuzibu bwe baafunanga nga bazze mu nkuŋŋaana ezitali mu lulimi lwabwe oba nga tewali abataputira. Okusobola okutegeera ebyabanga biyigirizibwa, omuntu yatuulanga nabo n’abibawandiikira ku lupapula. Eno ye ngeri ow’oluganda omu kiggala gye yayigamu amazima okumala emyaka musanvu, okutuusa lwe yafuna omuntu amutaputira.

Bakiggala abamaze ebbanga eddene nga Bajulirwa bajjukira obuzibu bwe baasanganga mu kubuulira abantu abawulira. Omukono ogumu baagukozesanga okulaga abantu kaadi okwabanga ennyanjula ennyimpimpi, ate omulala ne bagukozesa okubalaga Watchtower ne Awake! ezaabanga zaakafuluma. Kyabanga kizibu nnyo kiggala okuyigiriza kiggala munne Baibuli nga bakozesa ebitabo ebiri mu lulimi bombi lwe batategeera bulungi. Abamu bakyajjukira engeri gye baayisibwanga obubi bwe baafubanga okunnyonnyola abantu ebiri mu Baibuli naye nga tebabategeera. Era bamanyi bwe kiruma okuba ng’omuntu ayagala nnyo Yakuwa naye nga tamanyi ngeri gy’ayinza kwolekamu kwagala okwo. Lwaki? Kubanga baabanga tebeekakasa obanga bye bamanyi byabanga ntuufu.

Wadde nga baayolekagananga n’ebizibu ebyo byonna, baganda baffe bano baakuuma obugolokofu bwabwe. (Yob. 2:3) Baali beetegefu okulindirira Yakuwa. (Zab. 37:7) Era kati abawa emikisa mingi okusinga ne bwe baali basuubira.

Lowooza ku kufuba kw’ow’oluganda omu kiggala alina omukyala n’abaana. Nga vidiyo eziri mu lulimi lwa bakiggala tezinnajja, yakubirizanga okusoma kw’amaka. Mutabani we agamba nti: “Taata yazibuwalirwanga nnyo okukubiriza okusoma kw’amaka kubanga yakozesanga bitabo byokka okutuyigiriza. Ebyabanga mu bitabo ebyo oluusi yabanga tabitegeera bulungi. Ate naffe abaana twamuwanga obuzibu. Bwe yannyonnyolanga ebintu nga si bituufu nga tukimugambirawo. Wadde kyali kityo, teyayosanga kukubiriza kusoma kw’amaka. Yali akimanyi nti kikulu okubaako ky’atuyigiriza ku Yakuwa, wadde ng’okukikola oluusi kyamuviirangako okuswala olw’obutategeera bulungi Lungereza.”

Lowooza ne ku Richard, ow’oluganda atemera mu myaka 70, kiggala era nga muzibe, abeera e Brooklyn, mu New York, mu Amerika. Kimanyiddwa nti Richard tasubwa nkuŋŋaana. Okusobola okugenda mu nkuŋŋaana, alinnya eggaali y’omukka n’agenda ng’abala sitenseni kw’eyimirira asobole okumanya w’aviiramu. Lumu mu kiseera ky’obutiti, omuzira gwagwa mungi nnyo enkuŋŋaana ne zisazibwamu. Bonna mu kibiina baategeezebwa, naye Richard baamwerabira. Olwakijjukira nti baali tebamugambye, ab’oluganda basitukiramu ne bagenda bamunoonya, era baamusanga wabweru wa Kizimbe kya Bwakabaka ng’alinze baggulewo. Bwe baamubuuza lwaki yali atambudde mu muzira omungi bwe gutyo, yabaddamu nti, “Njagala nnyo Yakuwa.”

Oyinza Kukola Ki?

Mu kitundu mw’obeera mulimu bakiggala? Lwaki togezaako kuyiga lulimi lwabwe osobole okwogerako nabo? Bakiggala batera okuba abantu balamu era baba bagumiikiriza nga bayigiriza abalala olulimi lwabwe. Oyinza okusanga kiggala ng’oli mu buweereza bw’ennimiro oba nga oli ku bibyo. Oyinza kukola ki? Gezaako okwogera naye ng’okozesa obubonero, ng’owandiika, oba ng’okuba obufaananyi. Ne bw’aba tasiimye bubaka bwaffe, tegeeza Omujulirwa kiggala oba omulala yenna amanyi olulimi lwa bakiggala amukyalire. Ayinza okukkiriza amazima singa aweebwa obujulirwa mu lulimi lwe.

Wandiba ng’oli omu ku abo abayiga olulimi lwa bakiggala era ng’oli mu kibiina kya bakiggala. Oyinza otya okweyongera okutegeera n’okukozesa obulungi olulimi olwo? Ababuulizi abamu abali mu kibiina kyo ne bwe baba nga si bakiggala, yogera nabo ng’okozesa olulimi lwa bakiggala. Kino kijja kukuyamba okulowooza mu lulimi lwa bakiggala. Oluusi oyinza okusikirizibwa okwogera obwogezi mu kifo ky’okukozesa olulimi lwa bakiggala. Kyokka okusobola okuyiga olulimu lwonna obulungi kyetaagisa obugumiikiriza.

Bwe tufuba okukozesa olulimi lwa bakiggala kiba kiraga nti baganda baffe bakiggala tubaagala era tubassaamu ekitiibwa. Lowooza ku buzibu bakiggala bwe bayitamu ku masomero ne ku mirimu olw’obutasobola kutegeera bannaabwe bye boogera. Ow’oluganda omu kiggala yagamba nti: “Abantu be mbeeramu buli kiseera baba boogera. Olw’okuba sisobola kwegatta mu mboozi zaabwe, ntera okuwulira ekiwuubaalo, oluusi ne nkwatibwa n’obusungu. Engeri gye mpuliramu ebiseera ebimu sirina na bwe nnyinza kuginnyonnyola.” Enkuŋŋaana zaffe zisaanidde okuba ekifo baganda baffe bakiggala gye bafunira obuweerero nga balisibwa emmere ey’eby’omwoyo era nga banyumyako ne bakkiriza bannaabwe.​—Yok. 13:34, 35.

Tusaanidde okulowooza ne ku baganda baffe bakiggala abakuŋŋaanira mu bibiina by’ab’oluganda abawulira. Ebiyigirizibwa mu nkuŋŋaana bibataputirwa butaputirwa. Okusobola okubitegeera obulungi, bakiggala basaanidde okutuula mu maaso nga bali mu Kizimbe ky’Obwakabaka, basobole okulaba obulungi omwogezi n’omutaputa. Kino abalala mu kibiina bakimanyiira mangu ne kiba nga tekibaleetera kuwugulibwa. Enteekateeka eno esobola okugobererwa ne ku nkuŋŋaana ennene. Ab’oluganda mu kibiina abafuba okutaputira bakiggala ne bategeera bulungi basaanidde okusiimibwa.

Mu kibiina kyo bwe muba nga mulimu bakiggala, oyinza kukola ki okulaga nti ofaayo ku b’oluganda abo? Bayite bakukyalireko. Bwe kiba kisoboka, yigayo ebintu ebitonotono mu lulimi lwabwe. Eky’okuba nti tomanyi lulimi lwabwe tekirina kukutiisa. Ojja kufuna engeri gy’oyogeramu nabo, era okulaga okwagala mu ngeri eyo kijja kuvaamu ebirungi bingi. (1 Yok. 4:8) Tuganyulwa nnyo bwe tukolagana ne Bajulirwa bannaffe bakiggala. Baba bantu banyumya nnyo, bategeera mangu ekintu, era bamanyi okusaaga. Ow’oluganda omu nga bazadde be bombi bakiggala agamba nti: “Mbadde mbeera na bakiggala obulamu bwange bwonna era bye bankoledde sirina ngeri gye nnyinza kubisasula. Mu butuufu tulina bingi bye tusobola okuyigira ku baganda baffe bakiggala.”

Yakuwa ayagala nnyo abaweereza be abeesigwa, nga mw’otwalidde ne bakiggala. Ekyokulabirako kyabwe eky’okukkiriza n’obugumiikiriza kyongera ku bulungi bw’ekibiina kya Yakuwa. N’olwekyo, ka ffenna tutwale baganda baffe bakiggala nga ba muwendo nnyo!

[Obugambo obuli wansi]

a Laba ekitundu “Amaaso Ga Yakuwa Gabaakira” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 15, 2009.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Amawulire g’Obwakabaka gayinza okusikiriza kiggala bwe gamubuulirwa mu lulimi lwa bakiggala

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 32]

Enkuŋŋaana zaffe zisaanidde okuba ekifo baganda baffe bakiggala gye bazzibwamu amaanyi mu by’omwoyo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share