LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 8/15 lup. 24-27
  • ‘Amaaso ga Yakuwa Gabaakira’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Amaaso ga Yakuwa Gabaakira’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okulaba Kwe Kuwulira
  • DVD Ziyambye Kinene Nnyo
  • “Olukuŋŋaana Olwali mu Lulimi Lwange!”
  • Basanyufu mu Mutima
  • Fuba Okuzuula Bakiggala Abali mu Bitundu Bye Mubuuliramu
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Baganda Baffe Bakiggala Batwale nga ba Muwendo!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Munoonye Aboogera Olulimi Olukozesebwa mu Kibiina Kyammwe
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Okubeera Kiggala Tekinnemesezza Kuyigiriza Balala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 8/15 lup. 24-27

‘Amaaso ga Yakuwa Gabaakira’

OMUNTU aba n’ebinywa ebisukka 30 mu maaso. Okusobola okuseka obusesi kyokka aba alina okukoseza ebinywa 14 biramba! Kuba akafaananyi bwe kyandibadde ng’onyumya emboozi ne banno naye nga tolina binywa bino. Kyeyoleka bulungi nti tewali yandinyumiddwa by’oyogera. Kyokka bwe kituuka ku bakiggala, ebinywa by’omu maaso tebiba bya kunyumisa bunyumisa mboozi. Ebinywa bino awamu n’ebitundu by’omubiri ebirala bye bakozesa nga balina ekintu kye baagala okutegeeza abalala. Bangi bawuniikirira bwe balaba abantu nga bakozesa olulimi lwa bakiggala okunnyonnyola ebintu ebitali bimu, ne bwe biba bizibu bitya.

Mu myaka egiyise, bakiggala bangi okwetooloola ensi batunudde ‘mu maaso ga Yakuwa’ mu ngeri ey’akabonero ne balaba ebintu eby’amakulu bye batalabangako mu maaso ga muntu mulala yenna. (Kung. 2:19) Kino tekibaddeewo mu butanwa. Okuva edda n’edda, Yakuwa abadde afaayo nnyo ku bakiggala, era kino yakiraga mu biseera bya Isiraeri. (Leev. 19:14) Ne mu kiseera kino Yakuwa alaga nti ayagala nnyo bakiggala. “Ayagala abantu aba buli ngeri okulokolebwa era bategeerere ddala amazima.” (1 Tim. 2:4) Bakiggala bangi bayize amazima agakwata ku Katonda, mu ngeri eyo ne baba nga balabye amaaso ga Katonda. Kino basobodde batya okukikola ng’ate tebasobola kuwulira? Nga tetunnaddamu kibuuzo ekyo, ka tusooke tulabe ensonga lwaki olulimi lwa bakiggala lwa mugaso nnyo gye bali.

Okulaba Kwe Kuwulira

Waliwo ebintu bingi ebikwata ku bakiggala ne ku lulimi lwabwe abantu bye batamanyi. Ka tunokoleyo ebimu ku byo. Bakiggala basobola okuvuga ebidduka. Bazibuwalirwa nnyo okutegeera omuntu ky’aba agamba nga batunuulidde mimwa gye gyokka. Olulimi lwa bakiggala lwa njawulo nnyo ku lwa bamuzibe, era obubonero obukozesebwa mu lulimi olwo tebuba bwa kugingirira bugingirizi. Bakiggala b’omu nsi yonna tebalina lulimi lubagatta. Ne bakiggala ab’omu ggwanga erimu baba n’ennimi nga zaawukanamu okusinziira ku kitundu gye babeera.

Bakiggala basobola okusoma? Abamu basobolera ddala okusoma, naye abasinga obungi kibazibuwalira. Lwaki? Kubanga ebigambo biba biwandiikiddwa mu lulimi lw’abantu abasobola okwogera. Lowooza ku ngeri omwana omuto gy’ayigamu okwogera olulimi. Okuva lw’azaalibwa, buli kiseera aba awulira abantu nga boogera olulimi olwo. Mu bbanga ttono aba asobola okugatta ebigambo n’ayogera ky’ayagala. Kino akikola awatali kufuba kwonna kubanga aba awulira olulimi nga lwogerwa. Bwe kityo, abaana bwe batandika okusoma, baba bayiga buyizi empandiika y’ebigambo bye baamala edda okutegeera era bye bamanyi okwatula.

Kati kuba akafaananyi ng’oli mu nsi gye boogera olulimi lw’otowulirangako, ng’oli munda mu kisenge eky’endabirwamu era nga tosobola kuwulira kintu kyonna kiri bweru. Buli lunaku abantu bajja wabweru w’endabirwamu ne bagezaako okwogera naawe, naye nga towulira bye boogera wabula olaba bulabi mimwa gyabwe nga gyenyeenya. Bwe bakimanya nti totegeera kye bakugamba, bagezaako okuwandiika bye bakugamba ku lupapula ne babikulaga nga balowooza nti olwo ojja kutegeera. Olowooza osobola okutegeera ekintu kyonna kye bakugamba? Kya lwatu nti tewali ky’oyinza kutegeera mu mbeera ng’eyo. Lwaki? Kubanga bye bawandiika biri mu lulimi lw’otowulirangako. Eno ye mbeera bakiggala abasinga gye balimu.

Olulimi lwa bakiggala luyamba bakiggala okuvvuunuka ekizibu ekyo. Omuntu bw’abakolera obubonero ng’akozesa ebitundu bye eby’omu maaso awamu n’ebitundu by’omubiri ebirala ng’agoberera amateeka g’olulimi lwa bakiggala, basobola bulungi okutegeera ky’agamba. Olulimi luno olwesigamizibwa ku bubonero obulabika luyamba omuntu okutegeera buli kimu ng’akozesa amaaso ge.

Mu butuufu, kumpi buli kabonero kiggala k’akola n’emikono gye, oba n’ebitundu bye eby’omubiri ebirala, kaba kalina kye kategeeza. Ebitundu bye eby’omu maaso tabikozesa kusanyusa busanyusa bantu wabula aba agoberera mateeka ga lulimi lwa bakiggala. Ng’ekyokulabirako: Bw’omubuuza ekibuuzo ng’ositudde ebisige kiyinza okutegeeza nti oyagala akkiriziganye ne ky’obuuzizza oba nti oyagala addemu yee oba nedda. Ate bw’ossa ebisige ng’obuuza ekibuuzo olwo oba obuuza ebintu gamba nga ani, kiki, ludda wa, ddi, lwaki, oba mu ngeri ki. Obubonero obumu obukolebwa n’emimwa buyinza okulaga obunene bw’ekintu, oba okuggumiza ky’ogamba. Engeri kiggala gy’akozesaamu omutwe, ebibegabega, amatama, era n’engeri gy’atemyamu byonna biba byongera amakulu mu ebyo by’ayogera.

Obubonero obwo bwonna buyamba omuntu okutegeera n’okunyumirwa ebiba byogerwa. Bakiggala abamanyi obulungi olulimi luno basobola okuggyayo amakulu g’ekintu kyonna​—ka kube kusaaga, kwogera ku sayansi, ku mukwano, oba kwogera ku bintu ebirabika n’ebitalabika.

DVD Ziyambye Kinene Nnyo

Amazima agakwata ku Katonda bwe gannyonnyolwa mu lulimi lwa bakiggala, olwo kiggala aba asobola okuwulira obubaka obwo ‘n’akkiririza’ mu Oyo eyabuweereza. Bwe kityo, Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna bafubye okuwa bakiggala obujulirwa n’okubakolera ebibayamba okutegeera. (Bar. 10:14) Kati we twogerera, waliwo ttiimu 58 okwetooloola ensi ezivvuunula ebiyigirizibwa okubizza mu nnimi za bakiggala, era bifulumizibwa ku DVD mu nnimi 40. Kino kuvuddemu birungi ki?

Jeremy alina abazadde nga bombi bakiggala agamba nti: “Taata wange yamalanga essaawa nnyingi mu kisenge kye ng’agezaako okusoma ategeere obutundu nga bubwo mu Omunaala gw’Omukuumi. Yavangayo nga yenna akyamuukiridde nga bw’agamba nti: ‘Mbitegedde! Mbitegedde!’ Yatandikanga okunnyinyonnyola bye yabanga asomye. Mu kiseera ekyo nnalina emyaka 12 gyokka. Nnatunulanga mu bwe yabanga ayogerako ne mmugamba mu lulimi lwa bakiggala nti: ‘Taata, sirowooza nti ago ge makulu. Ekituufu kiri nti . . . ’ Teyaŋŋanyanga kumalayo era yasitukirangamu n’addayo mu kisenge yeetegereze obutundu obwo nate. Sigenda kwerabira ngeri kino gye kyamumalangako ssanyu, era nneewuunyanga okumulaba ng’addayo mu kisenge n’obumalirivu. Kyokka okuva eby’okuyiga lwe byatandika okufulumira mu lulimi lwa bakiggala ku DVD, asobola bulungi okubitegeera. Kati bwe mmutunuulira ng’annyonnyola engeri gy’awuliramu eri Yakuwa kimpa essanyu lya maanyi.”

Lowooza ne ku bino ebyaliwo mu Chile Omujulirwa omu ne mukyala we bwe baayogera n’omuwala kiggala ayitibwa Jessenia. Nga bamaze okusaba maama we olukusa, baalaga Jessenia Ekitabo Kyange eky’Engero​—Kyali ku DVD mu lulimi lwa bakiggala ab’omu Chile. Bagamba nti: “Jessenia bwe yatandika okulaba DVD yasooka kuseka, ate oluvannyuma n’akaaba. Nnyina bwe yamubuuza lwaki yali akaaba, yaddamu nti lwa kuba bye yali alaba byali bimunyumira nnyo. Awo maama we we yamanyira nti Jessenia asobola okutegeera buli kimu bwe kiba ku DVD.”

Omukazi kiggala eyali abeera mu kyalo ekimu mu Venezuela yalina omwana omu, era ng’ali lubuto. Olw’enfuna entono, ye ne mwami we baali tebaagala kuzaala mwana wa kubiri, era olubuto baali baagala kuluggyamu. Nga kino tebalina kye bakimanyiiko, Abajulirwa ba Yakuwa baabatuukirira ne babalaga ebiri mu ssomo 12 mu brocuwa Katonda Atwetaagisa Ki?, nga biri ku vidiyo mu lulimi lwa bakiggala olwogerwa mu Venezuela. Essomo lino liraga engeri Katonda gy’atunuuliramu okuggyamu embuto n’obutemu. Nga wayise ekiseera, omukyala oyo yategeeza Abajulirwa abo nti yaganyulwa nnyo mu ssomo eryo kubanga lyabayamba okusalawo obutaggyamu lubuto. Bwe kityo DVD eri mu lulimi lwa bakiggala yayamba mu kuwonya obulamu bw’omwana!

Omujulirwa kiggala ayitibwa Lorraine agamba nti: “Okuyiga Baibuli kubadde ng’okujjuza akakunizo. Waliwo ebintu bingi bye nnali simanyi​—amabanga ge nnalina okujjuzaamu. Naye amazima ga Baibuli bwe gaatandika okuvvuunulwa mu lulimi lwa bakiggala, amabanga ago ne ŋŋenda nga ngajjuzaamu.” Kiggala ayitibwa George amaze emyaka 38 nga Mujulirwa agamba nti: “Awatali kubuusabuusa, okwesomera ekintu n’okitegeera ku lulwo kikuleetera okuba omukakafu n’okuwulira nti oli wa mugaso. Sirina kubuusabuusa nti DVD eziri mu lulimi lwa bakiggala ze zisinze okunnyamba okukulaakulana mu by’omwoyo.”

“Olukuŋŋaana Olwali mu Lulimi Lwange!”

Ng’oggyeko DVD ez’olulimi lwa bakiggala, Abajulirwa ba Yakuwa baatandikawo enkuŋŋaana mu nnimi za bakiggala. Kati we twogerera, waliwo ebibiina eby’ennimi za bakiggala ebisoba mu 1,100 okwetooloola ensi yonna. Bakiggala bayigirizibwa mu lulimi lwabwe, era amazima ga Baibuli gannyonnyolwa mu ngeri gye bategeera obulungi. Okubayigiriza mu ngeri eyo kiraga okufaayo ku mbeera yaabwe, era nti ba muwendo.

Birungi ki ebivudde mu kutandikawo ebibiina by’ennimi za bakiggala? Lowooza ku Cyril eyabatizibwa ng’Omujulirwa wa Yakuwa mu 1955. Yamala emyaka mingi ng’akola ky’asobola okusoma ebitabo byaffe era nga tayosa nkuŋŋaana za Kikristaayo. Emirundi egimu mu nkuŋŋaana tewaabangawo bataputa. Bwe kyabanga kityo, Bajulirwa banne baagezangako ne bamuwandiikira ebyabanga biyigirizibwa. Embeera yasigala bw’etyo okutuusa ekibiina eky’olulimi lwa bakiggala ekyasooka mu Amerika lwe kyatandikibwawo e New York mu 1989, nga wayise emyaka 34 bukya abatizibwa. Cyril yawulira atya ng’agenze mu kibiina ekyo? “Nnawulira ng’avudde mu kibira, oba mu mpuku omuli ekizikiza ne ntuuka awali ekitangaala. Lwali lukuŋŋaana oluli mu lulimi lwange!”

Ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa eby’ennimi za bakiggala bye bifo bakiggala we bakuŋŋaanira ne basinza Katonda n’okuyiga ebimukwatako. Mu bifo ebyo abantu ba Katonda beeyongera okumanyagana era bazzibwamu amaanyi. Olw’okuba mu bitundu bingi mu nsi bakiggala bakisanga nga kizibu okuwuliziganya era n’okukolagana n’abantu abalala, ebibiina bino bibaleetera obuweerero bwa maanyi. Ebibiina bino bibawa akakisa ak’okuyigirizibwa, ssaako okukulaakulana mu by’omwoyo ne mu buweereza bwabwe eri Yakuwa. Bangi ku bo basobodde okufuuka ababuulizi ab’ekiseera kyonna. Abamu basazeewo n’okugenda mu nsi endala okuyamba bakiggala bannaabwe okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Abasajja Abakristaayo bakiggala batendekebwa ne bafuuka abasomesa era abalabirizi abalungi, era bangi bafuna ebisaanyizo okwetikka obuvunaanyizibwa mu kibiina.

Mu Amerika eriyo ebibiina by’ennimi za bakiggala ebisoba mu 100, n’ebibinja nga 80. Mu Brazil, ebibiina by’ennimi za bakiggala biwera nga 300, awamu n’ebibinja ebisoba mu 400. Mu Mexico ebibiina by’ennimi za bakiggala bikunuukiriza mu 300. Ate mu Russia eriyo ebibiina ng’ebyo ebisoba mu 30, n’ebibinja 113. Ebyokulabirako ebyo ebitono biraga omulimu ogw’amaanyi ogukoleddwa okwetooloola ensi.

Abajulirwa ba Yakuwa era bategeka enkuŋŋaana ennene mu nnimi za bakiggala. Omwaka oguwedde, waaliwo enkuŋŋaana za disitulikiti ezisoba mu 120 okwetooloola ensi. Enkuŋŋaana zino ziyamba Abajulirwa bakiggala okukiraba nti bali bumu n’ab’oluganda abalala mu nsi yonna abaliisibwa obulungi mu by’omwoyo.

Leonard, Omujulirwa kiggala amaze emyaka 25 ng’aweereza Yakuwa, agamba nti: “Bulijjo mbadde nkimanyi nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima, naye nnali sitegeera bulungi lwaki aleka abantu okubonaabona. Oluusi kino kyandeeteranga okumunyiigira. Kyokka mu mboozi emu eyaweebwa mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti olwa bakiggala, ensonga eyo yannyonnyolwa bulungi ne ngitegeera. Emboozi eyo olwaggwa, mukyala wange n’ankoonako n’olukokola era n’aŋŋamba nti, ‘Kati omatidde?’ Nnamuddamu nga nzenna ndi mukakafu nti, yee! Oluvannyuma lw’emyaka 25, ndi musanyufu nti saava ku Yakuwa. Mbadde mwagala bulijjo naye nga simutegeera bulungi. Leero mutegedde!”

Basanyufu mu Mutima

Kiki bakiggala kye balaba mu maaso ga Yakuwa nga bayize ebimukwatako? Okwagala, obusaasizi, obwenkanya, obwesigwa, ekisa​—n’engeri ze endala nnyingi.

Abajulirwa ba kiggala okwetooloola ensi balaba amaaso ga Yakuwa era bajja kweyongera okumutegeera. Olw’okuba abaagala nnyo, ‘Yakuwa aboolekezza amaaso ge ne gabaakira.’ (Kubal. 6:25) Nga bakiggala bafunye essanyu lingi nnyo olw’okumanya Yakuwa!

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 24, 25]

Okwetooloola ensi, ebibiina by’ennimi za bakiggala bisukka mu 1,100

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]

Amaaso ga Yakuwa gaakira bakiggala

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share