LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 7/11 lup. 2
  • Abaana Bo Beeteefuteefu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abaana Bo Beeteefuteefu?
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Similar Material
  • Yamba Abaana Bo Okwolekagana n’Okugezesebwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Weeteeseteese Okuddayo ku Ssomero?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Amaka Go Gayinza Gatya Okubaamu Essanyu?—Ekitundu 2
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Abazadde—Mutendeke Abaana Bammwe Baagale Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
km 7/11 lup. 2

Abaana Bo Beeteefuteefu?

1. Lwaki abaana abasoma beetaaga okuba abeeteefuteefu?

1 Buli abaana baffe lwe baddayo ku ssomero oluvannyuma lw’oluwummula, tewali kubuusabuusa nti boolekagana n’ebizibu ebirala ebipya awamu n’okupikirizibwa. Ate era, kibasobozesa okufuna akakisa akalala “okutegeeza amazima.” (Yok. 18:37) Abaana bo beeteefuteefu?

2. Okusobola okuba abeeteefuteefu, kiki abaana bo kye basaanidde okumanya?

2 Abaana bo bamanyi bulungi ebizingirwa mu kwenyigira mu mikolo egyoleka mwoyo gwa ggwanga n’ennaku enkulu ez’ekikaafiiri, era n’ensonga lwaki okubyenyigiramu kikyamu? Beeteekeddeteekedde okupikirizibwa okw’okuluubirira obuyigirize obwa waggulu, okwenyigira mu bukaba, n’okukozesa obubi omwenge oba ebiragalalagala? Banaagamba bugambi nti eddiini yaabwe tebakkiriza kukola bintu ebyo, oba bamanyi engeri y’okunnyonnyolamu enzikiriza zaabwe?—1 Peet. 3:15.

3. Abazadde bayinza batya okukozesa Okusinza kw’Amaka okw’akawungeezi okuteekateeka abaana baabwe?

3 Kozesa Okusinza kw’Amaka okw’Akawungeezi: Kyo kituufu nti mu mwaka gwonna ogw’okusoma, ojja kukubaganyanga n’abaana bo ebirowoozo okusinziira ku bwetaavu bwe banaabanga nabwo. Naye bw’ofuba okukubaganya nabo ebirowoozo nga tebannaddayo ku ssomero ku bizibu bye bayinza okwolekagana nabyo, kijja kubayamba okuba abavumu. Lwaki tokozesa ekiseera eky’Okusinza kw’Amaka okw’akawungeezi okubayamba okweteekateeka? Oyinza okubuuza abaana bo ekisinga okubeeraliikiriza bwe balowooza ku kuddayo ku ssomero. Musobola okwejjukanya ensonga ze mwakubaganyako ebirowoozo mu myaka egiyise okuva bwe kiri nti kati abaana bo bakuze era nga n’okutegeera kwabwe kweyongedde. (Zab. 119:95) Muyinza okwegezaamu nga weefuula omusomesa, omuwi w’amagezi ku ssomero, oba muyizi munne. Yigiriza abaana bo engeri y’okuddamu ebibuuzo nga bakozesa Bayibuli n’okukozesa akatabo Reasoning awamu n’obutabo Young People Ask. Omuzadde omu yeegezangamu n’abaana be ng’omwaka gw’okusoma gwakatandika ng’abateekateeka okutuukirira abasomesa baabwe abapya okubategeeza nti bo Bajulirwa ba Yakuwa.—Laba Omunaala gw’Omukuumi, ogwa Ddesemba 15, 2010, olupapula 3-5.

4. Kiki abazadde ab’amagezi kye bakola?

4 Ebizibu abavubuka Abakristaayo bye boolekagana nabyo mu nnaku zino ez’oluvannyuma byeyongedde okuba eby’amaanyi. (2 Tim. 3:1) Abazadde ab’amagezi balowooza nga bukyali ku bizibu abaana baabwe bye banaayolekagana nabyo (Nge. 22:3) Ng’omwaka gw’okusoma omupya tegunnatandika, kola kyonna ekisoboka okuyamba abaana bo okuba abeeteefuteefu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share