Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Jjanwali: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Mufube okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku mulundi gwe muba musoose okubakyalira. Abantu bwe basangibwa nga bakalina, era nga tebaagala kuyiga naffe Bayibuli, ababuulizi bayinza okubawa emu ku magazini zaffe enkadde oba brocuwa yonna etuukagana n’embeera. Febwali: Ababuulizi bayinza okugaba ekimu ku bitabo bino: Is There a Creator Who Cares About You?, The Bible—God’s Word or Man’s?, oba Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka. Maaki: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Mufube okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku mulundi gwe muba musoose okubakyalira. Abantu bwe basangibwa nga bakalina, era nga tebaagala kuyiga naffe Bayibuli, ababuulizi bayinza okubawa emu ku magazini zaffe enkadde oba brocuwa yonna etuukagana n’embeera. Apuli ne Maayi: Watchtower ne Awake! Abo ababa balaze okusiima, mubawe tulakiti Wandyagadde Okumanya Amazima? era mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli. Bwe muddayo eri abo abaagala okumanya ebisingawo nga mw’otwalidde n’abo abaaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo oba ku nkuŋŋaana ennene naye nga tebatera kubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli nga mukozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza.
◼ Okutandika ne Febwali, okwogera kwa bonna okunaaweebwa abalabirizi b’ebitundu kujja kuba n’omutwe ogugamba nti: “Otadde Obwesige Bwo mu Yakuwa?”
◼ Okutandika ne magazini ya Febwali 1, 2012, magazini ya Watchtower eya bonna ejja kufulumirangamu ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti: “Bye Njiga mu Bayibuli.” Kitegekeddwa okuyamba abazadde okuyigiriza abaana baabwe ab’emyaka ena n’okudda wansi. Kijja kukyusibwakyusibwanga n’ebitundu bino: “Yigiriza Abaana Bo” ne “Eri Abavubuka Baffe.”