Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Febwali 6
WIIKI ETANDIKA FEBWALI 6
Oluyimba 32 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 12 ¶1-6 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Isaaya 47-51 (Ddak. 10)
Na. 1: Isaaya 51:1-11 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Abafumbo Abaasooka Baafumbiriganwa Batya?—rs-E lup. 249 ¶3-4 (Ddak. 5)
Na. 3: Lwaki Katonda ow’Okwagala Anaabaako b’Azikiriza?—2 Bas. 1:6-9 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Kiki Kye Nsaanidde Okumanya ku Bikwata ku Kuwuliziganya n’Abalala ku Intaneeti?—Ekitundu 2. Kwogera nga kwesigamiziddwa ku Awake! eya Agusito 2011 olupapula 10-13 ne Awake! eya Febwali 2012 olupapula 8-9.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Amagezi Ge Tuyinza Okukozesa Okugaba Magazini mu Febwali. Kukubaganya birowoozo. Mu ddakiika emu oba bbiri nokolayo ebimu ku bitundu ebiyinza okusikiriza abantu mu kitundu kyammwe. Oluvannyuma, ng’okozesa ebitundu ebisooka mu Watchtower ebikwatagana n’omutwe oguli kungulu, saba abawuliriza boogere ebibuuzo ebiyinza okusikiriza abantu n’ebyawandiikibwa bye muyinza okusoma. Kola kye kimu ne ku bitundu ebisooka ebiri mu Awake! ebikwatagana n’omutwe oguli kungulu, era obudde bwe bubaawo, kola kye kimu ne ku kitundu ekirala kimu okuva mu emu ku magazini ezo. Laga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo.
Oluyimba 96 n’Okusaba