Oluyimba 96
Noonya Abagwanira
Printed Edition
1. Mukama waffe yatuyigiriza,
’Kubuulira ekigambo:
‘Buli gy’ogenda, fuba okunoonya
Abettanira eby’omwoyo.
Bw’olamusa abali mu nju oba
Obaagalizza emirembe.
Bwe bagaana okukuwuliriza,
Weggyeko enfuufu ogende.
2. Abakusembeza basembeza ye.
Baggulwa ’mitima gyabwe.
Baagala ’bulamu obutaggwaawo
Era banaaweereza naawe.
Teweebuuza by’ogenda okwogera,
Kuba Yakuwa abikuwa.
’Bigambo byo bwe binoga omunnyo,
’Bateefu basikirizibwa.
(Era laba Bik. 13:48; 16:14; Bak. 4:6.)