Oluyimba 36
‘Katonda ky’Agasse Awamu’
Printed Edition
1. Bagattiddwa wamu
Era balayidde.
Mu maaso ga Katonda,
Ne mu maaso gaffe.
Omwami alayidde
’Kwagal’o mukyala.
(CHORUS)
Yee, ‘Katonda ky’agasse
Tekyawulwangamu.’
2. Basomye ’Kigambo
Kya Katonda bombi,
Bamanye by’ayagala,
Byonna nga bwe biri.
’Mukyala alayidde
Okwagalanga bba.
(CHORUS)
Yee, ‘Katonda ky’agasse
Tekyawulwangamu.’
(Era laba Lub. 2:24; Mub. 4:12; Bef. 5:22-33.)